Enjuki zirundibwa olw’omubisi gwazo era okufuna ekisinga okuva mu zzo,Olina okumannya engeri esinga ey’okufuna omubisi okuva mu zzo.
Okukungula omubisi okuva mu njuki,osooka nakugya njuki mu bintu omuterekebwa omubisi .Kinno osobola okikola ng’okozesa omuwaatwa awayita omubisi ew’omulundi ogumu kino kiyamba okufulumya enjuki awali omubisi wabula nga tezisobola kuddamu kuyiingira.Omuwatwa guyungibwa ku lubaawo era olubaawo lunno luteekebwa wansi w’ebintu enjuki mwezitereka omubisi .Ng’essaawa abiriri munnya zimaze okuyita wo,omuterekebwa omubisi muba temukyali njuki.
Okugyamu omubisi
Ebintu enjuki mwe zitereka omubisi bitwalibwa mu kisenge wegusuunsulibwa okusobola okugyamu omubisi.Omubisi gusumululwa ng’osala olubu oluba lukutte weguli ng’okozesa akambe.
Wommala okusala olububi,ebisenge omuli omubisi biteekebwa mu kyuma ekigyamu omubisi era kinno kigugyamu nga kyetoloola ku sipiidi ennene.
Omubisi oluvannyuma guyisibwa mu kasengejja akatasobola kutalaga n’oluvannyuma era neguyisibwa mu kalala akalungi era nga tekasobola kutalaga oluvannyuma neguyisibwa mu kagoye akayitibwa micron 300 akasengejja.
Ng’omazze okusengejja,omubisi guteekebwa mu buccuppa,negupimibwa era negulambibwa.