Engeri y’okulimamu enva endirwa za Broccoli -Enkola z’okulima okwa magoba nga otaddemu kitono n’ofuna amagoba mangi

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=NSXxN6vSPXI

Ebbanga: 

00:04:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Business Ideas English
Engeri y'okulimamu enva endirwa za Broccoli.Enkola z'okulima okwa magoba, enva endirwa eza Broccoli okwa magoba nga otaddemu kitono n'ofuna amagoba mangi . Enva endirwa eza broccoli zimanyikiddwa nnyo mu nsi yonna. Ekika ky'enva endirwa ekya broccoli sabzi kirimu ekiriisa ekya vitamini,ebirungo eby'enjawulo n'ebikendeeza obutwa mu mubiri.Enva endirwa za broccoli nnungi nnyo ku ndwadde nga ssukaali, okuziyinza ku kkansa n'endwadde z'omutima era zongera omubiri amaanyi okusobola okulwanyisa endwadde. Omulimu gw'okulima enva endirwa eza broccoli kuza amagoba mangi era oteekamu kitono nnyo nga otandika.Enva endirwa eza Broccoli zirimibwa mu budde obuwewevu

Olw’okweyongera kw’obwetavu bw’enva endirwa naddala eza kiragala ku katale k’ensi yonna, wabaddewo obwetavu bwokwongera ku makungula mu balimi.

Engeri gy’ekiri nti enva endirwa eza Broccoli zirimu ekirungo kya  vitamini , ebirungo eby’enjawulo mpozzi n’ebikendeeza obutwa mu mubiri. zIkola nnyo ku ndwadde nga sukaali, n’okuziyiza endwadde z’omutima. Omulimu gw’okulima enva endirwa zino kuzza amagoba mangi ate era oteekamu kitono.
ENDABIRIRA Y’EKIRIME
Okusinzira nti kirimibwa mu budde buwewevu mu ttaka omuli nakavundira, ettaka erisinga okusimbibwamu ekirime kino lirina okuba eryolusenyusenyu n’erya bbumba eriddugavu nga lirina olunnyo lw’ettaka oluli wakati wa 5.8 ne 6.5 omuli ebigimusa by’obutonde n’amazzi agamala. Simbuliza endokwa mu nnaku 30 oluvanyuma lw’okusiga mu mabanga ga 42/45*16/30cm mu mmerezo ey’obugazi bwa 92cm.
Mu ngeri y’emu, fukirira endokwa okumala essaawa eziwera nga tonaaba kusimbuliza era ozifukirire amangu ddala nga wakamaliriza okusimbuliza  okusinzira nti enva endirwa eza broccoli zikulira nnyo mu ttaka egimu,kozesa ekigimusa ekya NPK, n’ekirungo kya lime okusobola okukuuma olunyo lw’ettaka kisobozese ekimera okukula obulungi.
 Enva endirwa eza broccoli kirime eky’emirandira ekimpi era olina okukifuyira ennyo era oteekewo enkola okukasa nti amazzi gamala naddala mu budde bw’enkuba. Genda mu maaso nga oggyamu omuddo ogwonoona ebirime amangu ddala okusobola okwongera ku makungula. Kino kikolebwa nga weyambisa eddagala erifuuyira ebirime, n’okukozesa ebyuma ebiggyamu omuddo ogwonoona ebirime.
Okwongerezaako,  kozesa enkola ennungi ey’okusimba ebirime eby’enjawulo buli lusimba, kungula ekibala ng’okisala busazi wansi w’enduli era weyongera okukisala okutuusa ng’embeera y’obudde efuuse ya bbugumu nnyo oba ya bunyogovu nnyo nga tekikyasoboka ku kungula.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:09Enva endirwa eza Broccoli kirime ekirimu ekiriisa kya vitamini, ebirungo eby'enjawulo mpozzi n'ebikendeeza obutwa mu mubiri
00:1000:18Kikola bulungi nnyo ku bulwadde bwa ssukaali, okuziyiza ku kkansa n'endwadde z'omutima.
00:1900:40Kirime ekikulira ennyo mu budde obuwewevu mpozzi n'ettaka eryolusenyusenyu n'ery'ebbumba eriddugavu
00:4100:53Olunyo lw'ettaka lulina okuba wakati wa 5.8 ne 6.5
00:5401:24Simbuliza endokwa mu nnaku ssatu oluvannyuma lw'okusimba oziwe n'amabanga agamala
01:2501:43zifukirira bulungi okumala essaawa eziwera nga tonasimbuliza
01:4401:48Fukirira amangu ddala nga wakasimbuliza
01:4902:32Enva endirwa ekika kya broccoli kisinga kukulira nnyo mu ttaka egimu
02:3302:48Fukirira buli ddakiika naddala mu budde obw'ebbugumu era okozese enkola ennungi ekakasa nti amazzi ganyikira mu ttaka naddala mu budde bw'enkuba
02:4903:33Ggyamu omuddo ogwonoona ebirime amangu ddala era okozese enkola ey'okusimba ebirime eby'enjawulo buli lusimba
03:3403:51Kungula ebibala nga obisala wansi w'enduliy'ekirime
03:5203:58Kikuume okutuusa nga obudde bufuuse bwa bunyogovu nnyo oba bwa bbugumu nnyo nga tekikasoboka kukungula
03:5904:00Mu bufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *