Okusimba obulungi endokwa za ovacado emu ku ngeri y’okutandikamu ennimiro ennungi era ereeta amagoba.
Ngatonnasimba ovacado, londa ekifo ekirungi aw’okusimba ovacado. Amazzi okubeera nga gamala mu ttaka kirungi eri ovacado era kyekiva kikubirizibwa okukola ebikata amazzi gasobole okuggwa amangu mu ttaka. Gezesa ettaka mu myezi egy’enjawulo nga tonnasimba olwo oteekemu ebyetaagisa oba ebigimusa nga tonnasimba. Kebera endokwa okakase nti nti nnamu bulungi, ennyingo ewagattirwa ebirime era nga n’emirandira tegirina bulwadde.
Endabirira y’endokwa
Endokwa zikuumire mu kifo awatali mpewo era kakasa nti zifukirirwa buli kadde ng’okozesa amazzi amayonjo.
Endokwa bweziba nga zaaguma olw’omusana, osobola okuzisimba butereevu mu kasana naye bweziba tezaaguma, ziteeke mu nnyuma erimirwamu era ozireetere okuguma mpola mpola.
Nga tonnasimba, siiga enduli ppaka wansi ne langi enjeru okuzeewaza okwokebwa akasana.