Obumyu busolo okulundibwa okutundibwa wamu nga ekisoro ky‘awak naye nga tonatandika /okuleeta obumyu, tegeka byewetaaga era obereko nokumanya ku ndabirira y‘obumyu.
Bwoba olunda obumyu, wetaaga okuba nakayumba nga kali fuuti 4 mu mbirizi, fuuti2 mu bugazi wamu ne fuuti 2 obuwanvu okukakasa nti obumyu bwo burina amabanga agamala okutambula era bwoba orina obumyu 2 awo wetaaga obunene obusingako. Ekintu ekirala kiri ku mere y‘abumyu mwewetagira okuteeka emere n‘amazzi mu kayumba. Emere enkulu esobola okuba ebisubi (timothy hay) kubanga mulungi ku ndya y‘emere enungi. Obumyu obuto nga bukuze, osobola okubuliisa omuddo gwa alpha alpha naye obutto ddala bulina kugumira ku timothy hay.
Ebikolebwa ebirala mu kulabirira
Bwoba oliisa obumyu, era ojja kwetaaga ebivavava okuberawo. Ebiva ebya kiragala ebyebikoola byebisinga naye obumyu obuto tebulina kubikombako paka nga buwezeza emyezi estau. Bwoliisa obumyu emere ey‘empeke, kirungi neba nga ekolebwa mu muddo gwa timothy hay.
Yonja ekifo obumyu webutuuka nga ogyawo ebiwaya by‘amasanyale, okugyako ebintu wamu n‘ebiddagala obumyu byebuyinza okutukako nebulya okuva mu kilobo.
Mu kayumba tekamu ebintu ebigayika wamu n‘emubifo ebirala webutuuka obumyu busobole okugugaya. Kino kikulu mu kukendeeza amanyo g‘obumyu. Osobola n‘okusalako ku mannyo n‘engalo era obumyu obukirize okukpola dduyiro.