»Engeri y‘okwewala n‘okukendeeza ensobi mubulunzi bw‘enkoko«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=unSVqpJR1QU&t=25s

Ebbanga: 

00:11:48

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Adams Farm Foods
»Engeri y‘okukendeeza ensobi mubulunzi bw‘ebinyonyi. Mukatambi kano mulimu obubaka obukwata kungeri ezimu abalunzi z‘ebayinza okugoberera okukendeeza kunsobi mubulunzi bw‘ebinyonyi.«

Mubulunzi bw‘enkoko mulimu okusomozebwa kwamanyi wabula singa weewala ensobi ng‘ogoberera enzirukanya ya faamu y‘enkoko ey‘omulembe osobola okufuna ensimbi nyingi mubulunzi.

Kyamugaso nyo okutandika obulunzi bw‘enkoko nga otandika n‘enkoko ntono kikusobozese okufuna obumanyirivu obumala mununda y‘enkoko ey‘omulembe. Osobola okulunda enkoko nga ozikumira munnyumba oba okuzireka n‘ezitayaya.

Enzirukanya ya faamu

Wetanire nyo okuwandiika enfulumya n‘enyingiza y‘afaamu wamu n‘okukuuma ebiwandiiko ebikwaata kufaamu. Ekirala ffuba nnyo okulabirira obukoko obuto obwakaletebwa ku faamu nga obuwa ebugumu erimala wamu n‘obukuta obuyonjo okusobola okubutangira obutafa.

Mubukoko obuto saamu obukuta obumala olwo obukoko busobole okufuna ebbugumu erimala wabula obukuta buno bulina okuba nga buyonjo ate era nga bukalu bulungi wamu n‘okubukyusa buli kiseera.

Kakasa nga ennyumba y‘enkoko erina amabanga agamala okusobola okuyisa obulungi empewo awamu n‘okuwa enkoko ekitangaala ekimala kisobozese enkoko okweyagala obulungi.

Lambula enkoko zo buli kiseera okusobola okulaba endwadde awamu n‘ezo ezetaaga obuyambi era kakasa nga enkoko zirisibwa ku mmere erimu ekiriisa olwo osobole okufuna amagoba mubulunzi bw‘enkoko.

Buli kiseera kuuma obuyonjo awamu n‘okukakasa nga ennyumba y‘enkoko eyisa bulungi empewo okwewala endwadde wamu n‘okusobozesa enkoko okula n‘okubiika obulungi.

Weewale nyo okukumira enkoko mukifo eky‘omugoteko kubanga kino kiyinza okuziviirako obutakula bulungi awamu n‘okufa.

Ffuba nyo okulaba nga buli kiseera olinamu ku nsimbi kubanga mubulunzi bw‘enkoko mwetaagamu ensimbi. Ekisembayo kuumira wala eddagala lyonna ery‘obutwa okuva mukifo awalundirwa enkoko okwewala okufirizibwa.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:44Mubulunzi bw‘ebinyonyi mulimu amagoba era nga bwetaniddwa nyo kubanga osobola ofunamu ennyama, amagi n‘ensimbi.
01:4502:07Tandika obulunzi bw‘enkoko n‘enkoko ntono. Amagi ennyama y‘enkoko n‘ekalimbwe bitundibwa okufunamu esimbi.
02:0802:55Buli kiseera wandiika enfulumya n‘enyingiza y‘afaamu wamu n‘okukuuma ebiwandiiko ebikwaata kufaamu.
02:5604:02Labirira bulungi obukoko obuto nga obuwa emmere n‘amazzi ebirimu ekiriisa.
04:0304:26Tangira obukoko buleme kulya bukuta era obukoko buteremu obukuta obubuwa ebbugumu erimala.
04:2704:38Engeri y‘okwewala ensobi: kuuma obukuta nga buyonjo bukalu wamu n‘okubukyusa buli kiseera.
04:3905:31Kakasa nga ennyumba y‘enkoko eyisa bulungi empewo wamu n‘ekitangaala ekimala.
05:3106:30Liisa enkoko ku mmere erimu ekiriisa, beera muyonjo era kakasa nga ennyumba y‘enkoko eyisa bulungi empewo.
06:3107:26Weewale okukumira enkoko mukifo eky‘omugoteko era ffuba nyo okulaba nga buli kiseera olinamu ku nsimbi.
07:2708:01Kuumira wala eddagala lyonna ery‘obutwa okuva mukifo awalundirwa enkoko.
08:0209:29Ebika byobulunzi bw‘enkoko: enkoko zirundibwa munnyumba ate ezimu zirekebwa nezitayaya.
09:3010:11Emigaso gy‘okulundira enkoko munyumba: kiyamba okukungaanya amagi, ziza magoba mangi era kyanguya n‘emundiisa.
10:1210:42Obulabe bw‘okulundira enkoko munyumba: enkoko tezifuna mukisa kwetaaya nakulya kyezagala.
10:4311:01Enkola y‘okuleka enkoko okutayaya eziwa omwaganya okulya kyezagala awamu n‘okuziyamba okuguma amagumba.
11:0211:48Enkola y‘okuleka enkoko okutayaya eriziretera endwadde nga ate zabuseere okujanjaba.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *