Olw‘okubeera nti omulimu mulungi, obulungi n‘obungi bwa kasooli businziira ku kika n‘omutendera gwa tekinologiya ayeyambisidwa.
Kasooli akungulwa ku myezi ena nga kasooli akulidde ddala bulungi era nga kasooli atuusiza omuwendo gw‘amazzi ouweza ebitundu 24 ku buli kikumi era kino kikolebwa nga weyambisa tulakita ezikungula kasooli. Kino kikolebwa okukakasa nti omutindo gwa kasooli mulungi..
Okukungula Kasooli.
Ga tulakita ekungula kasooli bwe munoga era nga emutereka mu kiyumba kyayo ekyagizimbibwako, emutwala ne muteeka mu tuleera /kyana kyayo ekikaza era n‘emutambuza okumutuusa mu kifo oba enyumba okusobolola okukala. Kino kikolebwaka nga tugatta tuleera/ ekyana ekikkaza ku kyuma eky‘omukka ogukaza kasooli.
Mu ngeri y‘emu, omukka ogubuguma gusindikibwa mu tuleera nga buyita mu katimba okutuuka ku nsigo nga ebugumu lipimiddwa era ensigo zikazibwa kubitundu wakati 10-14 ku buli kikumi ku muwendo gw‘amazzi. Ezigo za kasooli zirondebwamu n‘ebyuma okusobola okuggyamu ebintu ebiteetagisa oba ensigo z‘omuddo.
Ensigo za kasooli ziteekebwa mu nsawo eza kiro ataano ku mutendera ogusembayo mu kusunsula era ensigo zino zirondebwamu, zirongosebwa era ne zawulibwamu mu bipimo by‘empeke ebitono,ebinene era n‘ebinene ennyo.Ensigo ez‘okusimbibwa zawulibwa ku birime by‘omumaaso era ensigo zakasooli endala ziteekebwa.
Ekisembayo, kasooli atwalibwa ku terekero erinnyogovu era akuumibwa ku bugumu lwa butundu 40 era ku bugumu esamusamu nga kati kasooli asobola okutundibwa.