»Ebimuli, enva endiirwa, eddagala erikoleddwa mu butonde ebisimbiddwa mu mazzi agatabuddwamu ebirungo| Obukodyo ku nnima y‘omu mazzi agatabuddwamu ebiriisa«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=ii43COwdV3I

Ebbanga: 

00:03:07

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Discover Agriculture
»https://discoveragriculture.com«

Abalimi b‘ebimuli baatwala obudde obuwera nga balowooza ku ttaka lyabwe. Kino kireetera obulimi bw‘ebimuli okulabika nga obuzibu era olw‘obwagazi bw‘ettaka, batono abakozesa ennima y‘omu mazzi agatabuddwamu ebiriisa.

Okusimba enva endiirwa mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa kitegeeza nti ebirime bisimbibwa awatali ttaka wabula mazzi n‘ebiriisa ebyetaagibwa bye bikozesebwa. Enkola era esobola okukozesebwa mu mwaka gwonna. Okulimira ebirime mu mazzi agalimu ebiriisa kuleeta amagoba mangi, kwetaaga ekifo kitono era kukozesa amazzi matono okusinga okulimira ku ttaka. Okuyingiza ebimuli n‘enva endiirwa mu nkola eno tekirungiya nnimiro ya nva ndiirwa kyokka wabula n‘omulimi afunamu.

Emiganyulo gy‘okulimira ebimuli mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa

Mu nkola eno, okufunamu kwanguyizibwa, osobola okuteeka ebiriisa byo ku buli kika ky‘ekirime, temuli muddo gwonoona birime n‘ebiwuka era n‘obulwadde butono obw‘okulwanyisa.

Enkola z‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa zirina emigaso okusinga enkola z‘okulimira ku ttaka. Emigaso gino mulimu; okufunamu amangu ku ludda lw‘okukula era ebirime bikula mangu ebitundu 50% okusinga ebyo ebikulira mu ttaka olwo ne muvaamu amakungula g‘ebikoola mangi.

Emiganyulo emirala

Okulima ebimuli mu nkola y‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa kikuwa obuyinza ku birungo ebigenda mu birime n‘ekipimo ky‘olunnyo ekyenkanankana ne kikusobozesa okukwataganya obutonde n‘ebyetaago bya buli kika.

Mu bufunze, awatali kiziyiza kya ttaka, ebirime tebyetaaga kukozesa maanyi mangi okutambuza ebiriisa okutuuka mu mirandira gyabyo mu nkola ey‘okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:36Obwagazi bw‘ettaka buleetera abalimi batono okwettanira okulimira mu mazzi ne basinga kulimira ku ttaka.
00:3701:28Emiganyulo gy‘okulimira ebimuli mu mazzi agatabuddwamu ebirungo.
01:2902:20Okulimira enva endiirwa mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *