»Obulunzi bw‘embaata ez‘amagi – Enkola eyeekola yokka mu kulundira embaata ez‘amagi mu katimba«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://youtu.be/3C2EsMZM1Tc

Ebbanga: 

00:04:44

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Zuula Eby‘obulimi n‘obulunzi.
»Embaata olulyo lwa indian runner zimanyiddwa nnyo olw‘obusobozi bwazo okubiika amagi amangi. waliwo ebika by‘embaata bisatu mu lulyo luno. Embaata enjeru n‘eza kikuusikuusi nnungi mu kubiika amagi. Embaata ekika kya khaki campbell nazo zimanyiddwa nnyo olw‘okubiika ennyo.«

Okulunda embaata kumanyiddwa nnyo era kya byanfuna ekireetera ddala ensimbi eziwerako. Waliwo endyo ez‘enjawulo ez‘embaata z‘ennyama n‘ez‘amagi okwetooloola ensi yonna.

Embaata zonna eziriwo kati ezirundwa awaka zaava mu binyonyi ebyomunsiko. Ebinyonyi byomunsiko ebyo bibungeeta ensi yonna era ebimu ku binyonyi ebyo bifuuliddwa bya waka era biriibwa. Enkumi n‘enkumi z‘embaata zisobola okulundibwa awatali mazzi nga ozirundira munda mu biyumba mu ngeri yeemu gy‘olundamu enkoko. Bw‘oba olunze embaata nga tewali mazzi, embaata zo zijja kubiika amagi agataliiko mpanga. Tosobola kwaluza magi ago okufuna obubaata obuto. Embaata empanga za nkizo nnyo mu kuzaaza oba okulinnyira enkazi.

Endabirira

Embaata zisobola okulundibwa nga nnyingi ddala era nga za kufunamu ssente oba okulunda entonotono okuziryako ennyama n‘okuzifunako amagi. Embaata zeetaaga ebiyumba ebitali bya bbeeyi nnyo era ebitaliimu bukodyo bungi mu kubiteekawo noolwekyo kyetaagisa ssente ntonotono okutandika obulunzi bw‘embaata obw‘okukola amagoba. Embaata binyonyi ebigumira embeera enzibu era byetaaga endabirira ntonotono.

Embaata zisobola okumanyiira kyenkana embeera yonna ereetebwa ebyo ebizeetoolodde. Zibiika amagi ekiro oba ku makya. Mu kugeraageranya weetaaga ekifo ekitali kigazi nnyo okulunda embaata.

Ebirungi ku mbaata

Mu kugeraageranya, embaata zirina ekiseera kitono mwe zikulira era obubaata obuto bukula manguko. Tezimala galumbibwa ndwadde za binyonyi eza bulijjo ezimanyiddwa. osobola okuliisa embaata zo ebika by‘emmere ebiwerako omuli; muwogo, kasooli, omuceere, ebibala, n‘emmere yonna endala eteetaaga ssente nnyingi era efunika amangu.

Zirina n‘omuze gw‘okulya omuddo ogukula mu mazzi, enkonge, ebimera ebya kiragala ebyongera ekirungi kya nitrogen mu ttaka, ensiringanyi, n‘ebiwuka eby‘enjawulo ekintu ekikendeeza ku nsaasaanya mu kugula emmere. Embaata zifa kitono era zibiika amagi okumala ebbanga eddene.

Emiganyulo emirala

Ebiva mu mbaata okugeza ennyama n‘amagi birima akatale ka maanyi mu ggwanga wamu ne mu mawanga amalala noolwekyo kintu kya maanyi mu kuleeta ssente era zisobola okuvaamu emirimu egiweebwa abantu.

Embaata ekika kya Indian runner lulyo lwa mbaata ez‘amagi olumanyiddwa ennyo olw‘obusobozi bwalwo mu kubiika amagi. Waliwo endyo za mirundi esatu mu mbaata ekika kya Indian runner. Mu ndyo ezo, embaata enjeru n‘eza kikuusikuusi nnungi nnyo. Waliwo n‘embaata ekika kya khaki campbell nalwo lulyo olumanyiddwa mu kubiika amagi amangi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:48Obulunzi bw‘embaata.
00:4901:40Okulundira embaata awatali mazzi n‘engeri gye kikosaamu enzaala yaazo.
01:4102:11Okutandika obulunzi bw‘embaata obw‘okukola amagoba.
02:1203:40Endabirira, endiisa y‘embaata wamu n‘emiganyulo egiri mu kulunda embaata.
03:4104:44Ebiggibwa ku mbaata wamu n‘ebika by‘embaata olulwo lwa indian runner.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *