Envunyu y‘enswera eyonoona ebibala ya bulabe eri abalimi abalima emiyembe. Emiyembe egikoseddwa tegisobola kutwalibwa ku katale olwo ne gyonoonekera mu faamu era ne kiviirako omulimi okufiirizibwa.
Obuzibu bw‘okukozesa eddagala okutangira enswera eyonoona ebibala eri nti bwofuuyira, eddagala litta enswera ezoonoona ebibala wamu n‘ebimu ku biwuka eby‘omugaso mu faamu y‘ebibala. Eddagala eririna obusobozi okutta ebiwuka eriyitibwa metarhizium 69 lireeteddwa okutangira enswera ezoonoona ebibala. Eddagala eritta ebiwuka lirina ebitundu bibiri; metarhizium powder n‘akakebe akakwata ebiwuka (pheromone plug).
Engeri gy‘ekikolamu
Enswera ezoonoona ebibala zikozesebwa okusaasaanya obuwunga obutta ebiwuka eri enswera endala. Enswera ensajja ebuuka n‘egwa mu mutego ogulina eddagala ly‘obuwunga ng‘egezaako okugoberera enkazi. Mu ngeri eno, eddagala lizikwatirako era bwezigenda nga zirisaasaanya eri enswera endala.
Akaloddo (molasses) kateekebwa mu mutego okusikiriza ebika eby‘enjawulo: enwera ensajja n‘enkazi. Emitego olwo giwanikibwa mu nnimiro y‘ebibala okusikiriza ebiwuka.
Emigaso
Enkola ez‘obutonde tezeetaaga kuteekamu ssente nnyingi, zigya mu buli mbeera era nnyangu okukozesa.
Nkola eyettanirwa kubanga ya butonde era ekendeeza ku bulabe obuva ku ddagala erifuuyira ebirime ne kikuuma bulungi ebibala n‘enva endiirwa.