Embizzi enkulu zikosebwa mangu ebbugumu eringi so nga ate obubizzi bukosebwa nnyo obunnyogovu. Ebbugumu oba obunnyogovu eby‘ekigero biyamba okutumbula enkula ennungi mu mbizzi n‘okwongera ku ebyo by‘oyinza okuzifunamu.
Embizzi enjeru eziyitibwa large white kimu ku bika by‘embizzi ebisinga okulundwa era zikozesebwa nnyo mu kuziwakisa n‘ebika ebirala. Embizzi ekika kya landrace zirina obusobozi okwongera omutindo ku bika by‘embizzi ebirala. Ekika kino kirina ennyama esingayo okuba ey‘omutindo kubanga kirina ebinywa n‘ennyama ennyingi, ekika kino kikula mangu era obubizzi bufuna mangu omubiri nga bwakava ku mabeere. T
Okulunda obubizzi
Obubizzi buzaalibwa n‘omugogo gw‘amannyo ag‘ekiseera agasobola okuluma n‘okuleeta amabwa ku nnywanto z‘embizzi enkazi, ne kizinafuya. Buleeta amabwa amanene mu bwenyi bwa bunaanbwo era buyinza okulumagana emikira ekiyinza okuvaako obulwadde. Okusala ku mannyo n‘okugawagala binaakozesebwa okwanganga ekizibu kino.
Okusala ku mukira kikolebwa okukendeeza ku kulumagana emikira n‘embizzi ezimu okulya zinnaazo nga tezinnava ku mabeere okwewala amabwa mu kaseera we buviira ku mabeere. Ebikozesebwa ebitukula era ebyogi biteekwa okukozesebwa okukendeeza ku bulumi n‘akatyabaga k‘okufuna obulwadde.
Endya n‘enzaala
Obubizzi buliisibwa emmere ey‘obuweke okumala ennaku ana mu ttaano ku nkaaga okwongereza ku mabeere ge ziyonka. Embizzi zeetaaga emmere ezimba omubiri okukula, eziyonsa okufuna amata, okukuuma omubiri wamu n‘okuzaala.
Okukula mu by‘okuzaala kupimirwa ku busobozi bw‘embizzi enkazi okusala ku myezi musanvu n‘okukuuma eggwako okumala ekiseera ekituufu n‘okuzaala waakiri obubizzi kkumi nga bulamu bulungi. Ennume zo nga zisobola okulinnyira era ne ziwakisa enkazi era nga obubizzi obuzaalibwa bunene ate nga tebulina ndwadde zonna nga zitambulira mu musaayi ogw‘olulyo lw‘embizzi ennume.
Okuziwa amazzi
amazzi agaweebwa embizzi galina kuba maweweevu, agali wakati wa ddiguli kkumi na munaana n‘abiri anti embizzi zinywa amazzi mangi. Empiira ezitambuza amazzi zirina okubeera ensabike oba okuziyisa mu ttaka, anti bw‘otokikola amazzi gajja kwokya gabeere nga teganyweka.
Ennywanto ezinywerwako zirina okukeberebwa okukakasa nti amaanyi amazzi kwe gajjira geego agatuukana n‘obukulu bw‘embizzi zisobole okunywa amazzi agamala.
Embizzi eziyonsa zirina obwetaavu bw‘amazzi bwa maanyi nnyo kubanga zibeera zirina okufuna amata.