Enkola y‘okulima awatali ttaka etwalibwa ng‘engeri empya ey‘okulima okwetooloola ensi era engeri eno ey‘okulima emanyiddwa nga okulimira mu mazzi. Wabula enkola eno ebaddewo okumala emyaka nkumi n‘enkumi okuviira ddala mu 1600BC.
Mu kyasa ekya 21, okulimira mu mazzi etandise okufuuka enkola ya bannakibuga okwetooloola ensi era ne mu Kenya.
Emigaso gy‘okulimira mu mazzi
Emigaso giri, okukozesa ekifo ekitono, ennima erabika bulungi ate nnyonjo kubanga tokozesa ttaka. Noolwekyo, teweetaaga kuddugala ng‘olima, okulimira mu mazzi kukekkereza ebitundu 80% eby‘amazzi, ebirime bikula mangu olw‘ebirungo ebibiweebwa n‘ennima etatwala bbanga ddene.
Era kikendeeza ku kulumbibwa ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde olw‘okukendeeza ku kukozesa ettaka naye bwe wabaawo obulwadde okubirizibwa okukozesa eddagala erifuuyira ebirime ery‘obutonde eritarina nnyo bulabe.
Ebika by‘ennima y‘omu mazzi
Waliwo ebika bibiri, ebifo awali ebirime n‘ebifo awalundirwa. Waliwo enkola ez‘enjawulo omulimi z‘asobola okukozesa. Enkola esooka yeeya nutrient film technique (NFT) era eno ekozesa byuma ate yeetaaga akuuma akapika amazzi okusobola okupika amazzi okuva mu tanka etereka amazzi okuteeka mu birime era esobola okuwanirira ebirime 450.
Enkola eyookubiri mu birime ye y‘ennimiro eri okumpi n‘effumbiro era ekolera nnyo omuntu yenna ayagala okugala okugaziya ekifo ku kabalaza ke. Enkola eno efukirirwa na ngalo era esobola okuwanirira ebirime 300.
Endabirira y‘ebifo
Enkola ya NFT ekozesa empiira enzirugavu entono okuwa amazzi okuyita mu mikebe okutuuka mu birime. Mu kufukirira, ebirungo biteekebwa mu mazzi era bikulukuta nga nga bipikiddwa ku kirime ekisembayo era amazzi ne gaddamu okukozesebwa. Enkola eno nnungi ku birime bya lettuce, broccoli, cauliflower, spinach ne kales.
Mu nnimiro eri okumpi n‘effumbiro, enkola ekolebwa na ngalo mu ngeri y‘okufukirira ebirime bulu lunaku n‘ekidomola. Ennimiro nnungi ku bibala bya strawberries, spinach and kales era ewanirira ebirime 300.