»Obulwadde bw‘embizzi n‘ebiwuka ebinyuunyunsi n‘engeri y‘okubiziyizaamu ku faamu yo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=dXSAq32hS4M

Ebbanga: 

00:13:26

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Farm Kenya
»«

Ebiwuka ebinyuunyunsi bigabanyizibwamu ebibinja bibiri: Eby‘ebweru n‘ebyomunda. Eby‘ebweru bibeera wabweru wa mubiri gw‘ekinyuunyuntibwa. Ekinyuunyuntibwa y‘ensolo oba omuntu ebinyuunyunta kwe bibeera.

Ebiwuka ebinyuunyunta eby‘omunda bibeera munda mu mubiri gw‘ensolo era tebisobola kulabibwa. Bisobola okuzuulibwa ku bubonero bwe bireeta ku nsolo. Ebiwuka ebinyuunyunta eby‘omunda bibeera munda mu mubiri gw‘ensolo

Enjoka

Coccidia bwe buwuka obunyuunyunsi obutono obubeera mu butoffaali bw‘ebyenda by‘embizzi obubireetera obutafuna mmere.

Enjoka zigabanyizibwamu ebika omuli (roundworms, enfaana, hookworms and lungworms). Enjoka za roundworms zifunibwa okuyita mu mmere eyonoonese n‘amazzi mu ngeri ya magi oba envunyu (larvae). Embizzi zongera okulya naye okulya kutono ekizireetera okukula obubi.

Enjoka za lungworms zikosa amawuggwe ne kireetera embizzi okukolola buli kadde.

Enfaana (Tapeworms)

Omubiri gw‘enfaana gulina ennyingo nga ez‘olugalo lw‘omuntu. Buli nnyingo yeesalako gy‘ekoma okukula.

Enfaana zinywa omusaayi gw‘embizzi ne kizinafuya. Embizzi bwe zirumbibwa enfaana tezikula, obusobozi bwazo obw‘okulwanyisa obulwadde bukendeera era ne ziggwaamu omusaayi.

Omuntu asobola okusanga enfaana oba ebitundubyazo mu bubi bw‘embizzi.

Okuziyiza

Enjoka zisobola okusangibwa mu lubuto, mu byenda ne ssebusa. Kakasa nti emmere n‘amazzi tebyonoonese.

Kozesa empiira ezitambuza amazzi n‘ennywanto z‘amazzi embizzi kwe zinywera mu kifo ky‘ebinywero okuziyiza embizzi okulinnya mu mazzi. Mu mbeera ng‘omuntu talina busobozi bwa mpiira ezitambuza amazzi, kozesa ebinywero n‘ebiriirwamu ebitono.

Laba omusawo w‘ebisolo mu myezi ebiri ku esatu zisobole okuweebwa eddagala eritta ebiwuka buli kadde. Ebiwuka ebinyuunyunsi eby‘omunda bisangibwa nnyo mu myezi ebiri ku esatu oluvannyuma lw‘okuggya embizzi ento ku mabeere.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0002:00Ebibi ebireetebwa ebiwuka ebinyuunyunsi.
02:0102:34Ebinyuunyunta eby‘ebweru bibeera wabweru wa mubiri gw‘ekinyuunyuntibwa.
02:3503:05Ebiwuka ebinyuunyunta eby‘omunda bibeera munda mu mubiri gw‘ensolo.
03:0603:36Ebiwuka ebinyuunyunta eby‘omunda bibeera munda mu mubiri gw‘ensolo.
03:3704:10Enjoka za roundworms zifunibwa okuyita mu mmere eyonoonese n‘amazzi.
04:1104:50Embizzi ezirina enjoka zisobola okulabibwa nga zirya.
04:5105:34Enfaana zinywa omusaayi gw‘embizzi ekireetera obusobozi bwazo obw‘okulwanyisa obulwadde okukendeera.
05:3506:14Okuzuula enjoka oba ebitundu by‘enjoka mu bubi bw‘embizzi kiraga nti zirina enjoka.
06:1507:09Enfaana zaawulwamu ennyingo.
07:1008:05Kakasa nti emmere n‘amazzi tebyonooneka nga okozesa empiira ezitambuza amazzi n‘ennywanto z‘amazzi embizzi kwe zinywera.
08:0608:36Kozesa ebinywero n‘ebiriirwamu ebitono okwewaza embizzi okubirinnyamu.
08:3709:07Laba omusawo w‘ebisolo mu myezi ebiri ku esatu zisobole okuweebwa eddagala eritta ebiwuka buli kadde.
09:0810:00Ebika by‘enjoka eby‘enjawulo bisangibwa ku bitundu by‘omu lubuto eby‘enjawulo era biba n‘obubonero obw‘enjawulo.
10:0110:44Coccidia aleeta ekiddukano ky‘omusaayi, obunafu mu busobozi bw‘okulwanyisa obulwadde mu nsolo era n‘ensolo teteekako mubiri.
10:4511:20Enjoka za lungworms zikosa amawuggwa ne kireetera embizzi okukolola buli kadde.
11:2111:51Enjoka za toxocara worms zinywa omusaayi gw‘ensolo ne kireetera embizzi okuddukana, okukogga era zisobola okufa singa enjoka tezijjanjabwa.
11:5212:44Ebiwuka ebinyuunyunsi eby‘omunda bisangibwa nnyo mu myezi ebiri ku esatu oluvannyuma lw‘okuggya embizzi ento ku mabeere.
12:4513:26Ekifunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *