»Engeri y‘okutandikamu okulunda ebinyonyi ku ssente entono oba awatali ssente«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=Jt6oKs1bgQA&t=2s

Ebbanga: 

00:09:41

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Adams Farm Foods
»HowEngeri y‘okutandikamu okulunda ebinyonyi ku ssente entono oba awatali ssente. «

Mu nsi yonna obulunzi bw‘ebinyonyi bulimu amagoba era buwa n‘ekiriisa ekizimba omubiri, wabula nga tonnatandika kikulu nnyo okufuna obubaka, okukoppa abalunzi b‘enkoko abamanyiddwa era tandika mpola n‘obukoko bw‘olunaku olumu.

Okwongerezaako, manya ebika by‘ebinyonyi ebyetaagibwa era ogoberere emitendera ekikozesebwa okugeza okuwa ebinyonyi emmere ey‘omutindo, sooka otegeere bizinensi kuba kikuwa obumanyirivu n‘okwolekana okusobola okwongera amagoba n‘okukendeeza okufiirzibwa.

Emitendera egisookerwako

Tandika na kwewola kubanga obulunzi bw‘ebinyonyi bwetaaga okusigamu ensimbi ku ntandikwa.

Okwongerezaako, funa obukoko okuva ku batunzi abeesigika wabula, bulijjo tandika n‘omuwendo mutono ogw‘ebinyonyi ebitaatwale ssente nnyingi.

Mu kwongerako, londa ekika ky‘ebinyonyi eby‘okulunda okugeza ez‘ennyama oba ezaamagi era bw‘omala okulunda tunda ebiva mu binyonyi okufuna ssente.

Bulijjo kakasa ekifo okulonda eky‘okulundirako ekirungi okwanguya eby‘entambula n‘okwewala okwemulugunya okuva mu batuuze.

Era zimba ekiyumba ky‘enkoko ekirungi okusinziira ku kika ky‘ebinyonyi okugeza ebiyumba by‘enkoko ebiwangaala birungi eri abalunzi abalunda okufuna amagoba.

Okwongerezaako, gula ebikozesebwa mu kulunda ebinyonyi ebirungi okwanguya okulya n‘okunywa. Bulijjo weewale okufuna abakozi abangi kubanga kino kyetaaga ssente nnyingi.

Tegeka ekkulizo ly‘obukoko ng‘obukoko tebunnaleetebwa era okakase endabirira entuufu mu by‘obulamu bw‘ebinyonyi ng‘ozigemesa, ng‘oziwa emmere ennungi n‘amazzi amayonjo.

Ekisembayo, kozesa obukodyo obutuufu obw‘okunoonya akatale okugeza okunoonyereza okusobozesa okutunda ebiva mu binyonyi okusobola okufuna ssente.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:49Bwoba otandika obulunzi bw‘ebinyony funa obubaka, koppa ku balunz abamanyifu era otandike kitono.
00:5001:47Londa ekika ky‘ebinyonyi ekyetaagibwa, obulunzi bw‘ebinyonyi bulimu amagoba singa bukolebwa bulungi.
01:4802:45Kakaasa ng‘oziwa emmere ey‘omutindo era sooka otegeere bizinensi.
02:4603:40Emitendera egisookerwako; Tandika na kwewola era funa obukoko mu balunzi abeesigika.
03:4104:20tandika n‘omuwendo gw‘ebinyonyi mutono era omanye ekika ky‘ebinyonyi eky‘okulunda.
04:2105:23oluvannyuma tunda ebiva mu binyonyi era okakase nti olonda ekifo ekirungi awookuteeka faamu.
05:2406:22Zimba ekiyumba ky‘enkoko ekirungi ng‘osinziira ku kika ky‘ebinyonyi era ogule ebikozesebwa eby‘omutindo.
06:2307:06Weewale okufuna abakozi abangi era funa obukoko obulungi okuva mu batunzi abamanyiddwa.
07:0707:56Tegeka ekkulizo ly‘obukoko ng‘obukoko tebunnaleetebwa era ebinyonyi obiwe emmere ey‘omutindo.
07:5708:40Kakasa endabirira entuufu mu by‘obulamu bw‘ebinyonyi ng‘ozigemesa, ng‘oziwa emmere ennungi.
08:4109:41Kozesa obukodyo obutuufu obw‘okunoonya akatale okugeza okunoonyereza.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *