»Eddagala ly‘enkoko eddungi n‘obudde mwerigemebwa«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=7xQrpli_BTg

Ebbanga: 

00:08:50

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AIM Agriculture
»Kyamugaso nnyo okugema ebinnyonyi byo okusobola okwewala obulwadde. Enteekateeka eno eraga okugema kw‘enkoko okuvira ddala ku lunaku lumu okutuuka nga zikuze«

Mu kulunda enkoko, okugema kintu kikulu nnyo kubanga kiyamba okutangira endwadde. Kyamugaso okumanya obudde obw‘okugemeramu enkoko.

Nga tonafuna bukoko bwa lunaku lumu, kakasa nti ekkulizzo ly‘obukoko webunatuukira waliwo ewava ebbugumu, ekitangaala n‘obukuta. Bwofuna obukoko, bugye mu kibbokisi obuteeke bulungi mu kkulizzo era ozireke ziwumuleme okumala eddakiika ttaano. Oluvannyuma lw‘eddakiika ttaano, ziwe amazzi agatabuddwamu ekirungo ekiwe obukoko 0buto amaanyi okumala ennaku ssatu. Emmere y‘obukoko buno etandikirwako erimu ekirungo kya vitamini n‘ekirungo ekiwa amaanyi obukoko obuto.

Ekipande ekigobererwa mu kugema

Ku lunaku olwe 14, gema enkoko ng‘ozitangira eri obulwadde bwa sotoka naye oluvanyuma lw‘okugema kakasa nti enkoko tozikuba ddagala litta buwuka, kubanga oluvanyuma lw‘okugema obusoboozi bw‘omubiri okulwanyisa endwadde tebwetaaga kutaataganya.

Zigeme nga otangira obulwadde bwa Gumboro ku lunaku olwa 20, ozigeme sotoka ku lunaku olwa 28 era oddeme ozigeme obulwadde bwa Gumboro ku lunaku olwa 33.

Zigeme okusobola okuzitangira eri obulwadde bwa namusuna ku lunaku olwe 42. Lino likubibwa ng‘onyika empiso mu ddagala erigema oluvanyuma n‘olikuba mu kabubi akali mu kiwaawatiro ky‘enkoko.

Ku lunaku olwa 50, gema enkoko zo omulundi ogusembayo ng‘ozitangira obulwadde bwa sotoka era oziwa ekigero ky‘eddagala erinywebwa. Abalunzi basobola okukozesa eddagala erigema sotoka erya LaSota eriwebwa enkoko nga bazikuba mpiso wansi w‘olususu n‘emu nnyama yaazo. Kino kiziyamba obutakwatibwa bulwadde bwa sotoka wakati w‘ebbanga lya myezi 6 n‘omwaka gumu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:30Nga tonafuna bukoko bwa lunaku lumu, kakasa nti ekkulizzo olitesetese bulungi.
00:3100:54Nga omaze okufuna obukoko, buteeke bulungi mu kkulizzo.
00:5502:26Ziwe emmere etandikirwako n‘amazzi agatukula.
02:2704:19ku lunaku olwe 14, zime ng‘ozitangira obulwadde bwa sotoka
04:2004:54ku lunaku olwa 20, sooka ozigeme nga ozitangira obulwadde ba Gumboro
04:5505:21ku lunaku olwa 28, ziwe eddagala eritangira sotoka lyokka.
05:2205:48ku lunaku olwa 33, ddamu ozigeme ng‘otangira obulwadde bwa sotoka.
05:4906:44ku lunaku olwa 42, zigeme ng‘otangira obulwadde bwa namusuna.
06:4507:10Ku lunaku lwa 50, ziwe eddagala erinywebwa erisembayo.
07:1108:39Eddagala lya sotoka erya LaSota liziyiza ebinnyonyi obutakwatibwa sotoka wakati w‘ebbanga ly‘emyezi omukaaga n‘omwaka gumu.
08:4008:50Okufundikira.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *