»Faamu y‘embuzi- engeri y‘okutandiikamu ennunda y‘embuzi ngotaddemu kitono-enteekateeka y‘embuzi eziyitibwa bengal enzirugavu«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=lrVxHATPkQM

Ebbanga: 

00:04:31

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Business Ideas English
»Faamu y‘embuzi ezirugavu eza Bengal- engeri y‘okutandiikamu ennunda y‘embuzi ngotaddemu kitono n‘okufuna amagoba amangi.Enteekateeka y‘ennunda y‘embuzi eziyitibwa bengal enzirugavu mu India. Okulunda embuzi enzirugavu eza Okulunda embuzi mulimu gwa ttunzi nnyo.«

Engeri omulimu guno gye guli ogwe ttunzi mu bulunzi, obungi n‘omutindo gwe biva mu kulunda embuzi eza Bengal gusinziira ku tekinologiya wa makungula akozeseddwa.

Embuzi za Bengal ziva Bangladesh era zifuna nnyo singa oba ozifuddeko n‘okuzirabirira obulungi mu kulunda.

Endabirira y‘embuzi

Embuzi za Bengal nga bwe ziggumira embeera y‘obudde yonna, zirundibwa mu butono nga ate za kutunda era zirundibwa mu nnunda egwanidde. Okulunda embuzi kuleeta ensimbi, emirimu ate kyetaagisa abakozi batono kuba embuzi za bengal zibeera ntono mu kikula era tezetaaga kuzimbira kwa maanyi.

Mu ngeri y‘emu, kyetaagisa okukola obugazi bwa fuuti 10 ku buli mbuzi ne futi wakati wa 20-25 bwobeera ozimba ennyumba yaazo ey‘omulembe nga eyisa bulungi empewo munda n‘ekikomera ekinywevu okuziyiza ezibiyiganya.Tereka ebintu byonna ebyeyambisibwa mu kuliisa n‘okunywera munda mu nnyumba era oteeketeeke ennyumba ez‘enjawulo mwe zinaayonseza, ezirina eggwako n‘ennume eziwakisa.

Ennyumba erina okuba nga eri waggulu ko ku buwanvu bwa fuuti 4-5 n‘akasolya akaweza obuwanvu bwa fuuti 6-8 nga mulekeddwamu amabanga omunaayita omusulo amangu. Teekako ekiveera mu maddirisa okuziyiza obunyogovu obususse mu mbuzi era kuuma embuzi enzadde n‘omwana waayo obudde obw‘ekiro mu kifo embuzi wezizaalira naddala mu biseera by‘obutiti.

Weyongere okuyonja ennyumba buli ku makya era weewale okumansa ebikyafu era embuzi ziwe emmere erimu ekiriisa ekiri ku mutindo nga omuddo n‘ebirungo zisobole okukula obulungi. Ziwe amazzi amayonjo, era ennume eziwakisa ziteeke zokka n‘ezirina eggwako nga tezinazaala.

Okwongerezaako, obwana bw‘embuzi bulina okuterekebwa mu kifo ekibugguma era obuyonje nga bumaze okuzaalibwa. Akabuzi kawe amata mu ssaawa ntono nga kakazaalibwa okusobola okwongera ku busoboozi bw‘omubiri okulwanyisa obulwadde era kagabirire singa embuzi enzadde eba terina mata gamala.

Mu ku maliriza, gema embuzi era fuba nnyo okukwatagana n‘omusawo w‘ebisolo osobole okuziyiza endwadde ku faamu yo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:14Ennunda y‘embuzi za Bengal efuna kiralu singa oba oziteseetese n‘okuzirabirira obulungi.
00:1500:45Embuzi za Bengal ziwa ennyama ennungi n‘okuzaala obwana.
00:4600:54Ziggumira buli kika ky‘embeera y‘obudde.
00:5501:04Zirundwa mu kifo kitono ate mu nnunda ennungi.
01:0501:20Zifuna nnyo, ziwa abantu emirimu era zetaaga abakozi batono.
01:2101:39Zino embuzi ntono mu kikula era kyetaagisa enzimba ntono.
01:4001:51Fuuti 10 zokka zetaagisa ku buli mbuzi ne fuuti wakati wa 20-25 mu kuzimba ennyumba ey‘omutindo.
01:5201:59Kakasa nti otaddeko ekifo awayisa empewo obulungi munda era ozimbeko ekikomera
02:0002:03Tereka ebintu byonna ebyeyambisibwa mu kuliisa, ebinywerwamu munda mu nnyumba.
02:0402:08Yawula ennyumba y‘embuzi ennume ez‘okuwakisa, eziri eggwako n‘eziyonsa.
02:0902:18Ennyumba erina okuba waggulu ko mu buwanvu bwa fuuti 4-5 n‘akasolya nga kalina obuwanvu bwa fuuti 6-8.
02:1902:38Leekawo emiwatwa era oteekemu ekiveera mu bumooli
02:3902:42Teeka akabuzi ne maama waako naddala obudde obw‘ekiro mu kifo awazaalirwa naddala mu biseera by‘obutiti.
02:4302:51Yonja ennyumba buli ku makya era weewale okumansa ebikyafu.
02:5203:21ziwe emmere ezirimju ekiriisa n‘okuziwa ebirungo ebirala.
03:2203:30Embuzi ziwe amazzi amayonjo.
03:3103:51Ennume ez‘okuwakisa ziteeke zokka era zawule ku ezo ezirina eggwako nga tezinazaala.
03:5204:03Obwana bulina okuteekebwa mu kifo ekibugguma era obuyonje.
04:0404:18Obwana buwe amata mu ssaawa ntono nga bwakazaalibwa.
04:1904:24Okugabirira kwetaagisa singa embuzi ezadde eba terina mata gamala.
04:2504:29Gema embuzi mu biseera era okwatagane n‘omusawo w‘ebisolo bulungi.
04:3004:41mu bufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *