Obulunzi bw‘enkoko bizinensi nungi nnyo ddala, yetagisa sente ntono okutandika ate nga ofuna kiralu mu banga tono.
Wabula ,oluvanyuma lw‘okutandika obulunzi bunno, kyetagisa nnyo okuteeka wo enkola eyamba okwewala obulwadde obuletera ebinnyonyi okuffa. Era abalunzi bassanye okutereka ebiwandiiko ebikwata ku faamu zabwe obulungi kubanga kiba okumanya oba faamu ekolera mu kufiirwa oba mu magoba. Waliwo ebintu ebikozesebwa, nezimasiini ezetagisibwa mu kulunda ebinyonyi era nga mulimu ebirirwamu, ebinywebwa mu, ebimamiza n‘ekyuma ekitabula emmere y‘enkoko.
Empajji ez‘enkukunala
Tandika okunonyereza ku bintu ebikulu ebyenjawulo ebikwata ku kulunda enkoko okugeza ,ng‘ekika ky‘enunda , ekika ky‘enkoko n‘ewokujja ebyokulya ebyetagisa.
Womala ebyo, kola entekateka y‘obulunzi bwo kikuyambe okufuna ekirubirirwa era kikusobozese okukuumira ku kigendererwa kyo mu kulunda.
Era funa ensimbi ezitandika zikusobozesa okugula ebyetagisa omuli, okugula ettaka , ozimbewo ebiyumba , okugula ebikozesebwa ,ebyokulya n‘okusasula abakozi .
Ngatwongerezako, funa ettaka ettono mu kifo omutabeera bantu ,ngatekirimu mazzi, ozimbe wo ekisikirize
Mukweyongera yo, kungannya ebikozesebwa, omuli ebyuma era owandiise faamu yo ku buli mutendera .
Womalilriza, funa abakozi era obatendeka , oluvannyuma otumye obukoko ,era otandiike okwetegekera okwaluza.
Fuba okulaba nga buli kaseera otta obuwuka mu kiyumba , opangulule ebikozesebwa, era okope ebikolwa nga webuuza ku bamannyi osobole okwewala okufiirwa ebinnyonyi byo kubanga omutendera gw‘okwaluza gwetaaga obwegendereza obwamannyi.
Nga tumaliriza, tandika okufunira ebinnyonyi byo akatale amangu ddala nga obukoko butuuse ku faamu osobole okufuna akatale mu kiseera ekituufu.