Waliwo ebiseera bibiri ebikulu, kwe kugamba, ekiseera eky‘enkuba n‘ekiseera ky‘omusana. buli kimu kirina ensonga zaakyo bwe kituuka ku bulunzi bw‘embuzi.
Bw‘okozesa enkola ez‘obutonze, kibale okukakasa nti embuzi zizaalira mu kiseera eky‘omusana kubanga mu kiseera ky‘omusana, wabaawo endwadde ntonotono n‘endabirira y‘obubuzi obuto ebeera nnyangu. Obuwuka obw‘ebika eby‘enjawulo obuleeta endwadde bwe buleeta obulwadde obusinga okukosa obubuzi obuto era buno bukendeera mu kiseera eky‘omusana naye bweyongera mu kiseera eky‘enkuba.
Ebikolebwa mu kiseera ky‘enkuba
Mu kiseera ky‘enkuba, endwadde nnyingi zisuubirwa noolwekyo eddagala eritta obuwuka okugeza; pen and stip, oxytetracycline 10% ne gentamicin lirina okutegekebwa.
Mu wiiki eyookubiri ey‘ekiseera ky‘enkuba, wa ensolo zo eddagala ly‘ebiwuka kubanga ebiwuka ebisinga byekaaliisa nnyo era ne bizaalira mu biseera by‘enkuba. Osobola okukozesa eddagala ly‘ebiwuka ery‘okukuba empiso, okugeza; bimectin era oluvannyumalwa wiiki endala, ziwe eddagala ly‘ebiwuka eryomukamwa kubanga olumu eddagala ly‘ebiwuka eryomumpiso terikola bulungi ku nfaana (ennyinabo).
Yongera ku buka bw‘eddagala erifuuyirwa ly‘okozesa mu kufuuyira kubanga enkwa zitera okuba ennyingi mu biseera by‘enkuba oba yongera ku mirundi gy‘ofuuyira.
Ekiseera ky‘omusana
Mu kiseera ky‘omusana, ekisinga okubonyaabonya embuzi z‘enkukunyi. Zino zisobola okukolwako nga onaaza embuzi nga okozesa sabbuuni, sabbuuni w‘embwa ow‘amazzi oba okuzimansira eddagala ly‘obuwunga eriyitibwa Dudu dust.