»Engeri y‘okwewalamu okufa kw‘ente oba embuzi ku ddundiro lyo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=xPSKV6-Wehc

Ebbanga: 

00:11:12

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Hamiisi Semanda
»Engeri y‘okwewalamu okufa ku ddundiro lyo ery‘ente oba embuzi:okwekennenyezebwa kulina okukolebwa ku makya n‘olw‘eggulo, era olina okufuuyira, okutta ebiwuka, n‘okugema bulijjo ensolo«

Mu bulunzi bw‘embuzi olina kufaayo nnyo ku kulunda n‘okwala kwazo noolwekyo kya makulu nnyo okukendeeza ku kufa kwazo.

Okufirwako emu oba ebbiri oba essatu mu ggana ly‘embuzi 1000 tekiba kibi naye kiba kiraga nti waliwo ekikyamu ku ddundiro nolw‘ensonga eyo, bwofirwa embuzi emu, fuba nnyo okunoonyereza ekigiviriddeko okufa. Bwoba olunda embuzi, kikulu nnyo okuziwa ekifo wezetayiza mpozzi n‘ekiyumba ekiyisa obulungi empewo.

Okuzuula ensolo endwadde.

Fuba okulaba nga okebeera ensolo bulijjo. Bwomanya embuzi ennamu engeri gyeba efaananamu, kiba kyangu okuzuula ensolo endwadde. Ensolo endwadde ziba tezeyagala, ziba tezikanula maaso bulungi, nga zivamu amaziga mu maaso, ennyindo eba etuyaana, olususu teruba luwewevu mpozzi n‘ennyindo eba evamu eminyira.

Engeri y‘okulabiriramu ensolo

Wekennenye ensolo bulungi nnyo ku makya n‘olw‘eggulo. Yawula ensolo z‘osuubira okuba endwadde era oziteeke zokka kikusobozese okuzekennenya n‘okuzetegereza obulungi.

Kakasa nti ensolo zo zonna zigemebwa endwadde za mirundi ettaano oba mukaaga, era okakasa nti zifuuyirwa buli wiiki era oziwe eddagala erigema ebiwuka wakiri omulundi gumu oluvanyuma lw‘emyezi 3 naddala embuzi enkulu ate ento kakasa nti oziwa omulundi gumu mu wiiki kuba bukwatibwa mangu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:00Mu kulunda embuzi kikulu nnyo okukendeeza ku nsolo ezifa.
01:0102:00Okufiirwa embuzi emu, oba ebbiri okuva mu ggana kiraga nti waliwo ekitali kituufu ku ddundiro lyo.
02:0102:20Okukola ebintu obulungi kiziyiza omuwendo gw‘ensolo ezifa.
02:2103:19Embuzi ziteeke mu kifo ekiyisa empewo obulungi ate nga zisobola okwetaaya.
03:2007:44Okunoonya obubonero bw‘ensolo endwadde
07:4508:58Weetegereze ensolo zobulungi buli ku makya n‘olw‘eggulo era z‘otebereza okuba endwadde ozawule zokka.
08:5911:08Gema, fuuyira ate era otte ebiwuka ebitawaanya ensolo zo.
11:0911:12oKusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *