Nakavvundira ono akolebwa mu bubi bw‘ensiringannyi.
Ensiringannyi wezirya, zifulumya obuubi. obubi bunno ye nakavundira, naye olw‘okuba ensiringannyi ziffa mangu, nakavundira ono bamugattamu ensiringannyi enfu ekimuleetera okubaamu ebiriisa ebiyitirivu. Binno bikola ku birime byokka era tebisobola kutwalibwa mazzi.
Okukola nakavvundira
Ebikozesebwa mu kukola nakavvundira ono bisinzira ku bungi bw‘ebyo by‘oyagala okukungula naye woba olimira awafunda n‘ekidomola ekisaliddwa kuludda lumu kisobola okozesebwa. Kinno bakijjuza ebisigalira ebivva mu butonde.
Funa ensiringannyi oziteeke ku ludda olumu waggulu w‘ekidoomola obikeko ebigimusa ebikoleddwa mu butonde bittonotono oteekemu n‘amazzi.
Ensiringannyi zizaala era zirya ku bisigalira nga zivva ku nsonda emu okudda ku ndala nga wezifulumya obubi. Ebisigalira webiba biweddewo ,jamu nakavvundira oteekemu ebikozesebwa ebirala.
Nakavvundira akoleddwa mulungi nnyo ku bimera.
Amazzi agavva mu nakavvundira
Amazzi ganno kasoobola okola ng‘ekigimusa era osobola ogafuuyira okutta obuwuka ku bimmera. Mu kumukozesa ng‘ekigimusa eky‘ebikoola oba ng‘eddagala eritta obuwuka ,nakavvundira olina omusaabulula n‘amazzi ga kipimo kya ratio (1:1) ,muteeke mu bbomba ofuuyire ebimmera.