Abalime batera okwonoona ssente nnyingi ku bigimusa ebikolerere n‘eddagala erifuuyira ebirime.Wadde kino kiyinza okuwa amakungula amanene me bbanga ettono, okukozesa eddagala lino liyinza okukosa ettaka, ebyetooloddewo n‘abantu kubanga litta ebitonde ebibeera mu ttaka.
Ettaka eddungi kkulu eri ebirime okubisobozesa okukula obulungi era obuwuka buno obusirikitu buyamba kubanga buliisa bulungi ebirime wamu n‘okuwa ettaka ebiriisa olwo ebirime ne bikuumibwa eri endwadde.
Ebigonjoola eby‘enjawulo bisobola okutegekebwa okuyamba obuwuka obusirikitu obw‘omugaso okukulira mu ttaka. Ebigonjoola bino bya butonde era bikolebwa okuva mu birungo ebiriwo ku ssente ntono.
Obuwuka buno tebuteekabuteesi birungo mu ttaka wabula bwongera ne ku makungula.
Preparation of organic solution
Ebirungo ebyeetaagisa mulimu: kilo y‘ensaano erimu ekirungo ekizimba omubiri okugeza ensaano ya kawo, ekibatu kya sukaali, kilo emu ey‘obusa bw‘ente obubisi, kilo emu ey‘ebikoola bya neem, liita y‘omusulo gw‘ente ne liita kkumi ez‘amazzi.
Tabula ebirungo bino byonna mu kalobo kimu ku kimu. Tabula obusa obubisi n‘amazzi era ogattemu kalobo omuli ebirungo ebirala okukola ekintabuli. Gatta amazzi mu kintabuli era otabule ng‘okozesa omuti emirundi ebiri olunaku okumala eddakiika ttaano olwo obikke ku kalobo n‘ekisaanikira.
Ekitabuddwa kituuka okukozesebwa oluvannyuma lw‘ennaku kkumi kuba obuwuka obusirikitu buba bukuze nga bwekubisizzaamu era nga busobola okukozesebwa. Omuntu asobola okutegeera nti ekintabuli kituuse okukozesebwa okusinziira ku kasu akakivaamu.
Ebirungo n‘enkozesa
Ebikoola bya neem ebikozesebwa biyamba okutangira ebitonde ebyonoona ebirime okugeza obuwojjolo obweru obutono n‘enfuuyirize mu birime, ensaano erimu ekirungo ekizimba omubiri era eriibwa obuwuka obusirikitu obw‘omugaso, omusulo gw‘ente guwa obuwuka obusirikitu obw‘omugaso ekirungo kya nitrogen, amazzi gawa obuwuka obwo ekifo awookubeera ne bwekubisaamu ate obusa bw‘ente bulimu obuwuka obw‘omugaso bungi.
Mu nkozesa, teeka ekintabuli ku nsigo okuzijjanjaba era ozikalize mu kisiikirize. Ekintabuli kisobola okuteekebwa ku mirandira gy‘endokwa okuziyamba okukula.
Okufuuyira ebirime, saabulula liita emu ey‘ekintabuli ne liita 1oo ez‘amazzi omulundi gumu mu wiiki oba gumu mu wiiki bbiri ng‘ebimera bikula, bimulisa n‘okuteekako ebibala. Ekintabuli kisobola okukozesebwa okuwa ettaka ebirungo.