Endabirira enungi ey‘emwanyi bikulu nnyo okusobola okufunamu ekiwera. Okunoga n‘okukaza emwanyi by‘ebintu ebibiri ebikolebwa ebisalawo sente zofuna bwoba okwasaganya obulimi bw‘emwanyi.
Okunoga kyekimue ku mwanyi za Arabica ne robusta. Olina kunoga ezo zokka ezengenderedde ddala. Tonoga ezekibugwe era bwoba onoga, tosusumbulako ekikuta kubanga kino kikosa empeke era kireka enkovu ku muti awayita obulwadde. Okunoga emwanyi eza kiragala kukendeeza omutindo gwe mwanyi. Empeke enzirugavu ziba zikuzze neziyitawo era nazo zikendeeza omutindo gw‘amakungula okutwaliza awamu.
Enkwata nga omaze okukungula
Bwoba okungula, kirungi nokozesa obudeeya obuyonjoolwo bwoba onoga, empeke neziggwa ku kadeeya mukifo kyokugwa ku wansi ku ttaka. Bwoba okozesab bulobo, nabwo bulina okuba obuyonjo nga bukalu.
Nga omaze okukungula, Emwanyi enyengevu zikazze nga toziteeka mu ttaka, zikalize ku matundubali oba obudeeya. Okuzikaliza ku ttaka ekkalu kikosa empooma era kireeta nokumera obukuku/empumbu. Bwobera ozikaza, empeke zanjale bulungi nga tezisuka 3cm okwetuuma era obeere nga ozanjalayanjala okukakasa nti zikala bulungi zonna.
Ekiro oba enkuba bweba eyagala kutonya, emwanyi ziyingize era ozanjale ku nkokoto enyonjo oba ku budeeya. Oyinza okuzizinga mu matundubaali enkuba bweba ezze.
Abaguzi bo baffa ku bukalu bwa mpeke kwosa n‘omutindo. Obukalu bw‘emwanyi busobola okukeberebwa nga okozesa ekyuma ekipima obungi bw‘amazzi, okuluma mu mpeke oba okuzisalamu wakati.
Entereka y‘emwanyi
Nga zimaze okukala. empeke z‘emwanyi zirina okuterekebwa mu busawo obuyonjo. Sitoowa erina okuba nga nkalu, nga eyitamu empewo bulungiate nga tetonya. Mu nda mu sitoowa, ensalo z‘emwanyi zirina okuba nga tezituridde ddala ku ttaka nga ziri ku lubawo okwewala okusika obunyogovu okuva mu ttaka.