Okubeera nga yemu ku sector ezisiinga obunene okwetolola ensi, obulimi n‘obulunzi bukosebwa nnyo okukendeera kw‘obugimu mu ttaka okuyitiride ekivirako amakungula amabi ate nga matono.
Okugimusa n‘ebimera kitegeeza okuteeka ebikoola by‘akiragala, obuwakatirwa, obusaka wamu n‘obuti obwamatabi mu ttaka. Eno enkola ekozesebwa okulongosa enkula y‘ettaka wamu n‘obugimu mu ttaka okusobola okubuwangaaza.
Engeri y‘okukolamu ekigimusa.
Bwetuba tukola ekigimusa eky‘omubimera, ebikoola bya kiragala wamu n‘ebimera by‘ebirungo ebikulu mu kukyusa ensengeka y‘ettaka era omulimu omukulu gwa kwongera kigimusa kyamutaka, okwongeza ku kigimusa kya nitrogen, wamu n‘ebirungo ebirala ebyongeza ebikungulwa.
Okugimusa n‘ebimera kukoleka, kwabuwangaazi era nga kukekereza nga bwoyongera kumakungula g‘ettaka erikaddiye oba erikoze enyo.
Okwongerako, okugimusa nebimera kusinzira kumbeera y‘obudde mu nimiro. Ebika byobugimu obuva mu bimera bwebumu n‘obuva mu bikoola. Munkola eyokuzawo obugimu webuva, osimba ebimera mu nimiro, nobisala nga bigenda kumulisa n‘obiziika mu nimiro omwo mwenyini nga nakavundira avunda okukola obugimu kyoka ate okugimusa okw‘ebimera okwabulijjo, otabura ebikoola, nobuti mu taka. Ebikunganyizidwa birekebwa okumala enaku biri bisooke biwotoke, olwo nokolamu entumu, nobibika nga okozesa endagala bisobole okuvundamuko. Bino bizikibwa mu ttaka, nga bobikyusakyusa okutuusa lwofuna obugimu bwoyagala.
Ebirungi ebiri munkola eno
Okukozesa ebimera kyongera kubugimu bwomu ttaka, enkula n‘endabika y‘ettaka wamu nokwongera ebirungo ebiyamba mu ntambula y‘empewo mu ttaka kwosa nokugumira ebiwuka ebbyonoona ebirime n‘endwadde.
Ebibi ebiri munkola eno
Bwogerageranya ku nkola endala, ezokugimusa ettaka, okukozesa ebimera kitawaala obudde buwanvu era sikirungi kubulimi bwa sizoni
Nekisembayo, kitwala sente eziwerako okuteeka mu nkola bwogerageranya n‘enkola endala.