Mulimu emitendera minggi egibobererwa mu kukozesa eddagala erifuuyira enkwa naye olina okwegendereza singa oba okozesa erimu ku bika okwewala okuleeta obulabe ku bantu, ebisolo n‘obutonde obwetoloddewo.
Eddagala erisinga okozesebwa lyawulwamu ebika omuli;organophosphates, amidines, synthetic pyrethroids ne pyrethroids ez‘obutonde. Organophosphates littirawo naye lirina obusoboozi bw‘okuwangaala butono ddala kuba limalako wakati w‘ennaku 2 ku 3, amidines okugeza nga amitraz ne triatix lirina obuwangaazi obumala ebbanga eriwerako okusingira ku buuka obuba bukozeseddwa.Eddagala eriyitibwa Synthetic pyrethroids nga decatix lirina obusoboozi okuwangaala bwa nnaku wakati wa 7 ku 10 era liyamba nnyo mu kugoba ebivu. Pyrethroids ery‘obutonde nga coopers lisobola okukozesebwa.
Okwambala ebikozesebwa mu kwekuuma.
Eddagala erirondebwa okukozesebwa mu kufuyira lisinzira ku bintu bingi omuli;ebintu ebiriwo ,ebbeeyi y‘eddagala n‘ebikolebwa okuziyiza ebiwuka ebibeerawo ku lw‘ebirala nga enkukunyi,ensekere, n‘obuloolo. Nga tofudde ku kika kya ddagala lifuuyira ,yambala nga engoye ez‘okwekuumisa nga ovulo ne ggiravuzi zirina okwambalwanga nga ogenda okukozesa eddagala eryetaaga okusabulula. Nga okozesa eddagala lya organophosphates, ettaawo eriziyiza amazzi lirina okwambalwa ne ovulo.
Akakookoolo kalina okwambalibwa bwobeera ofuuyira okuziyiza okusika eddagala n‘obutayingira ku lususu.
Okuwabulwa ku nkozesa y‘eddagala.
Eddagala lyonna esabulule oba eritali sabulule bweliyingira mu lususu, naaba mangu. Emikebe gyonna egyeyambisiddwa girina okuteekebwa ewala awatatuuka baana n‘okusaanyizibwawo bwegiba giweddemu.
Abasawo abagaba eddagala ly‘ebisolo abali mu kitundu basobola okuwabula ku ddagala ki eddungi okusinzira ku mbeera eriwo, ayinza okuyambako nga awandiisa ani alina okufuna enkola z‘okunyika ensolo ku kyalo mpozzi n‘okukebeera okukasa obuka bw‘eddagala erifuuyira.