Obulimi bwa muwogo businga kwosebwa nnyo endwadde bbiri omuli: ekigenge(CMD) n‘ekigave(CBSD) wabula ekigenge kikosa nnyo ekimera era kireeta okufulizibwa ennyo.
Ekigave kisaasaanyizibwa ebiwuka nga obuwojjolo obweru. Obwambe obukozesebwa mu kusala enduli endwadde nabwo busaasaanya ekirwadde singa buba bukozeseddwa okusala enduli ennamu ate sn‘enduli y‘ekimera ekirina obulwadde bweyekuuta ku nduli y‘ekimera ekitalina bulwadde naddala mu biseera nga waliwo embuyaga.
Obubonero bw‘obulwadde bw‘ekigave mu muwogo.
Obubonero bw‘ekigave bulabikira ku bikoola,enduli, n‘emirandira.
Okumyukirira naddala ku bikoola ebikuze, ebikuubo ebya kitaka ebiba ku nduli ate mu mbeera embi ekimera kifa n‘ekikala okuva waggulu okukka wansi. Obubonero obusinga okuba obwamaanyi bwebwo obulabikira mu mirandira. Endabika y‘emirandira eba yefunyiza ate ekitundu ekiriibwakifuuka kya kitaka ne kivunda ate n‘okukaluba.
Ekirwadde kino kisaasaanyizibwa singa oba weyambisiza ebintu ebikozesebwa nga birina obulwadde buno mpozzi n‘okuzaazaamu ebika eby‘enjawulo singa emiti giba nga gyali mirwadde ku ntandikwa.
Endabirira y‘ekirwadde ky‘ekigave mu muwogo.
Ng‘otandika endabirira kakasa nti osimba emiti gya muwogo egitalina bulwadde,era weewale okugabana ebintu ebikozesebwa mu nnimiro emu ku ndala. Simba emiti gya muwogo egisobola okuggumira embeera ate emiti emirwadde gikule oba ogisaanyewo kuba ye givaako obuzibu obwa inoculum obuleetera ekirwadde kino okusaasaana mu nnimiro yonna.
Nga okunganya ebintu ebikozesebwa mu nnimiro fuba okulaba nga okulambula ennimiro kukolebwa bulungi nnyo omuntu omukugu mu kkowe eryo.s