»Okukyusa ebikuta bya muwogo obifuula emmere y‘ebisolo.«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=jkvHYqPLvyc

Ebbanga: 

00:06:40

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2015

Ensibuko / Omuwandiisi: 

International Livestock Research Institute (ILRI)
»Akatambi kano kalaga engeri ebikuta bya muwogo gye biyinza okukazibwamu n‘ebifulibwa emmere y‘ebisolo okusobola okukendeeza ku kwonoona obutonde bw‘ensi, okuliisa ensolo n‘okuziwa obulamu.«

Olw‘okuba emmere eno erimu ekiriisa,muwogo akyusibwa nakolebwamu ebintu eby‘enjawulo nga kwotadde obukundugulu n‘ebikuta okusobola okwongereza ku mmere y‘ebisolo.

Ebikuta bisobola okuliisa ensolo bwebiba bikaziddwa bulungi wansi okumala ennaku 2 ku 3 n‘ebifuuka byatunzi.

Bwebiba bikaziddwa bubi bizza amagoba matono olw‘obutwa okweyongera n‘ekivirako omutindo obutatukirira ogw‘okutundirako.

Ebikuta eby‘okusa birina okuba nga tebyonoonese okutangira ekyuma obutayonooneka nga babissa.

Okusa ebikuta.

Kozesa ebikuta ebipya kuba ebikuta ebikkaatuuse biseereera, biwewera,n‘ebigonda n‘ekibeera kizibu kyakubikuba.

Ebikuta bikubibwa emirundi essatu okusobola okufuna obukuta obutono obwoyagalwa.

Obukuta obukubiddwa buppakirwa mu bikutiya mu bipimo ebiri wakati wa kiro 8 ku 12 era bifunyibwako oluvanyuma n‘ebiteekebwa mu kyuma okugyamu amazzi nga biganyiga.

Ekifo ekigazi kiwa omwaganya okuteekawo jeke olw‘olubaawo olwawula ebikutiya okuva ku jeke n‘ekiretera amaanyi okugabanyizibwa ekyenkanyi.

Ekutiya ezinyigiddwa zivaamu ebitundu 50 ku buli kikumi ebya mazzi era zirekebwa okukkaatuuka n‘ezikola ekimere n‘obungi bwa mazzi obuli wakati w‘ebitundu 38-42 ku buli kikumi.

Ekimere kisekulwa okufuna ensaano.

Okusa kwawula ekimere okuva ku nsaano n‘ekigiretera okubaamu ekirungo ekyongera amaanyi mu mubiri.

Kaza ensaano eno okumala essaawa 68 zokka n‘obungi bwa mazzi bwa bitundu 12 ku buli kikumi era n‘eteekebwa mu kikutiya n‘eterekebwe okumala emyezi 46.

Longoosa ekifo awakoleddwa okusa n‘ebyuma ebikoze okuziyiza obuwuka n‘okukasa nti bisigala ku mutindo.

Ebiva mu bikuta bya muwogo mulimu: dried mash, coarse mash ne wet cassava peel cake.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:29Ku lw‘okuba esobola okuliibwa ensolo,ebikuta bya muwogo bikazibwa wakati w‘ennaku 2 ne 3 nga biri wansi.
00:3000:52Ebikuta ebikaziddwa obubi biwa amagoba matono olw‘obutwa okweyongera.
00:5302:07Ebikuta eby‘okusa birina okuba ebiyonjo ennyo okuziyiza ebyuma okwonooneka.
02:0802:16Ebikuta ebipya bye birina okozesebwa ebiseereera n‘ebiweeweera bizibu okusa.
02:1702:55Ebikuta ebisiddwa bippakirwa mu kutiya n‘efunyibwako katono mu kiro eziri wakati wa 8 ne 12 oluvanyuma neteekebwa mu kyuma n‘ebinyigibwa.
02:5603:07Ekifo ekigazi kiwa omwaganya okuteekawo jeke olw‘olubaawo olwawula ebikutiya okuva ku jeke n‘ekiretera amaanyi okugabanyizibwa ekyenkanyi.
03:0803:20Okweyambisa jeke ng‘okozesa amaanyi kireetera okukendeeza amazzi ebitundu 50 ku buli kikumi.s
03:2103:49Ebikuta ebinyigiddwa bikkaatuukira ekiro kilamba n‘ebikola ekimere ekisobola okuwebwa ensolo.
03:5004:07Ekimere kisibwa n‘ekifuuka ensaano.
04:0804:42Okusengejja kuyamba okwawula ebyekute n‘ensaano ekaziddwa.
04:4304:58Ensaano ekaziddwa eppakirwa era neteerekebwa.
04:5905:12Kuuma ebyuma n‘ekifo wokoledde nga wayonjo.
05:1305:42Peel products include wet cake cassava, dried mash and dried coarse mash.
05:4306:14Proper drying process depend on whether conditions and facilities.
06:1506:40Mu bufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *