Okukuuma obugimu uttaka weesigama kumpagi 4 nosobola okufuna amakungula amlungi. Ettaka nga liweddemu obugimu osobola okukozesa nakavundira , ebigimusa ebizungu, ensigo ennongooseemu n‘ennima eyomulebe egendera kuttakalyo n‘embeera y‘obudde. Enkola zino zebayita integrated soil fertility era zigabanyizibwaamu empagi nnya.
Empagi ennya
empagi esooka y‘eyebigimusa ebizungu yadde yabbeeyi naye egimusa mangu era ekola mangu.. Empagi ey‘okubiri yeyokozesa nakavundira. Ono ayina ebiriisa bitono bwogoregeranya nebigimusa ebizungu naye akuuma obunyogou m‘uttaka. Osobola okola nakavundira, okukozesa obusa bbwebisolo oba okusiba munnimiro ente oba embuzi nezirekamu obusa no‘musulo.
E
Empagi eyokusatu
Kozesa ensigo ennongoseemu ezisobola okugumira ebiwuka nendwadde naddala nga nettaka libadde ggimu.
Empagi esembayo
Eno yenkola eyabulijjo ennansi naddala ekwata kunnima ekwata amazzi, ettaka ne‘mukoka naddala mubitundu ebyensozi..