Kasooli mere nkulu era nga adda bulungi ku nkuba. Okutegeka enimiro n’okusimba obulungi byongera kumakungula okusinzira kukyotaddemu.
Kasooli asimbibwa mu kinya kya buwanvu 30cm. Abalimi balina okutekateeka enimiro mangu era nebasimba mubudde okusobola okwewaala omuddo, okukulukuta kw’ettaka ate nokusobozesa ensigo okumera obulungi. Okusambula enimiro kubaamu okujjamu omuddo/emiti n’amayinja okwanguyiza abakozesa tulakita okulima.
Entekateeka z’enimiro ezenjawulo
Okulimisa abantu, wano okozesa muntu okukabala nokukubakuba ettaka wamu nokutta omuddo.
Okulimisa ebisolo, wano osiiba enkumbi kunsolo ez’amaanyi entendeke era nga namu bulungi nga zirina emyaka esatu 3 nokudda waggulu okulima obuwanvu n’obugazi obubeera bwapimiddwa ku nkumbi.
Tulakita, eno yengeri esinga okwanguya nga tulakita esima ate era nesimbirawo.
Ofuyira eddagala. Wano okozesa ebomba okufuyira omuddo nga okozesa eddagala erisaniidde.
Kebera ensingo era osimbe naye gulanga ensigo mu bifo ebyesigika ate osimbe ekika kimu okusobola okumela obulungi n’okukuuma ensigo nga teyetabisetabise.
Ensimba y’akasooli
Simba empeke emu mubuli kinya nga okiwadde ebbanga lya 20cm okuva kukirala mu lukalala ate era okiwe 75cm oba 80cm okuva kukilala ekiri mu lukalala olulala. Ate bwoba osimba empeke bbiri bbiri, kozesa ebbanga lya 40cm ku 80cm.
Simba kumakya nnyo okusobozesa kasooli okukulira awamu.
Simba mu lunyiriri olwegolodde nga amabanga matuufu nga okozesa omuguwa okusobozesa ensingo okumera obulungi
Goberera endagirilo y’amabanga esaniide ku buli kika ky’akasooli.Nekisembayo, simba kasooli mukinya kya buwanvu bwa 30cm, oziike era okatire bulungi ettaka.