Muwogo akaawa alina obutwa neera ensano ya muwogo oyo yetagisa okulongosa obulungi nga tenalibwa.Okulya ensano eno nga telongeddwa bulungi kireeta obuttwa oluvanyuma lw‘okulibwa.
Ddila oteeke obungi bw‘ensano joyaga okufumba muntamu oba basini. seetezza ela olambe obusimba nga weyambisa akambe. Ela gataamu amazzi a mayonjo mpolampola nga bwotabula paaka nga ensano ebisiwadde nga obujji. Telina kubela nga ekozze obupiira bwensano.
Setezza ensano ku kifo ekiyonjo nga weyambisa ejjiko oba omukono paaka nga obukwafu bwayo butoniye okusingako ku lwala. Jileke mu ka saana okumala saawa 2 oba mu kisikilizze okumala saawa taano.
Fumba amazzi mu ntamu era ogatemu ensano elongoseddwa okutusa nga ofunye obugumu bwe wetaaga.