»Engeri y‘obutonde ey‘okutangiramu akasaanyi mu birime ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka (Maruca vitrata)«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://sawbo-animations.org/7

Ebbanga: 

00:04:18

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SAWBO
»Engeri y‘obutonde ey‘okutangiramu akasaanyi mu birime ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka, Maruca vitrata, buleeta obulabe ku kawo mu bugwanjuba bwa Africa . Kawo(Vigna unguiculata) atwalibwa ng‘emmere ey‘amakulu mu bifo ebikalu mu Africa, asimbibwa ku ttaka erisukka mu yiika 12.8 ez‘ettaka. Akasaanyi mu birime ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka kabi nnyo era kaleeta obukosefu bwamaanyi ku kawo mu magoba g‘abalimi. Akatambi kakwata ku kukozesa engeri z‘okwewala ennasiokuyamba okukendeeza akasaanyi mu nnimiro. Akatambi kagenderera okusomesa abantu n‘ebibinja ku kwewala ebitonde ebyonoona ebirime mu ngeri ennansi.«

Akasaanyi mu birime ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka kimu ku bitonde ebyonoona ebirime ekyamaanyi okugeza kawo era kireeta obukosefu, naye kisobola okutangirwa mu ngeri ey‘obutonde nga tukozesa abalabe baako ab‘obutonde nga z‘ennumba.

Amabala agatali ga bulijjo ku bikoola kasobola okuba akabonero akalaga obukosefu munda nga ke kasaanyi akato mu birime ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka nga kakulira munda akabiika ne kasaasaanya ku bimuli bya kawo ne biteeka ekituli mu kimuli ne katandika okukirya. Ebimuli ebikosefu bisobola okulabibwa ku kubeerawo kw‘obubi ku bimuli ne kibiviirako okufa. Akasaanyi era ne katuuka ku minyololo ne koonoona ensigo olwo ne kagwa wansi okuyita mu kaguwa nga kamaze okuyita mu mitendera etaano egy‘obulamu bwako ne kafuuka namatimbo era ne kifuuka ekiwojjolo oluvannyuma lw‘ennaku ttaano ku mukaaga ne kifuna ekifo ekirungi okusuula amagi.

Ennumba

Ng‘ekiwojjolo kimaze okubiika amagi, ennumba entono erumba amagi ago n‘eteekamu amagi gaayo mu magi g‘akasaanyi mu birime ebyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka nga kakozesa we kafulumiza. Amagi g‘akasaanyi galiibwa ennumba era mu kifo ky‘akasaanyi okutondebwa, nnumba y‘etondebwa. Ennumba ezitondeddwa zeewakisa era enkazi zirya amagi amalala ag‘akasaanyi olwo ne kiyamba okukendeeza ku bungi bw‘obusaanyi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:50Amabala agatali ga bulijjo ku bikoola kasobola okuba akabonero akalaga obukosefu. Munda mu bbala mubaamu akasaanyi akato akakula.
00:5101:11Akasaanyi kateeka ekituli mu kimuli ne katandika okukirya, ne kireeta bbi era olwo ekimuli ne kifa.
01:1201:55Akasaanyi era ne katuuka ku minyololo ne koonoona ensigo olwo ne kagwa wansi okuyita mu kaguwa nga kamaze okuyita mu mitendera etaano egy‘obulamu bwako.
01:5602:36Oluvannyuma lw‘ennaku ttaano ku mukaaga, ekiwojjolo kitondebwa ne kiwakisibwa ekisajja olwo ekikazi ne kifuna ekifo ekirungi okusuula amagi.
02:3703:18Amagi g‘akasaanyi galiibwa ennumba era mu kifo ky‘akasaanyi okutondebwa, nnumba y‘etondebwa.
03:1903:52Ennumba ezitondeddwa zeewakisa era enkazi zirya amagi amalala ag‘akasaanyi olwo ne zitta amagi.
03:5304:18Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *