Endabirira y‘enimiro ennungi eleeta amagooba mangi. Enkaza enungi ey‘emmwanyi n‘entereeka by‘ankizo okusoboola okukuma omutindo no‘kufuna amagooba mangi okuva mu mmwanyi.
Emitendela emitufu ejokulabirira mu emmwaanyi jankizo ela jongela okufuna kw‘emmwanyi.Okunooga, enkwatta ennungi n‘entereka bisalawo nnyo kunyingiza okuva mu mmwanyi.
Okunoga emmwanyi
Noga emmwanyi emyufu zooka lwakiri omulundi gumu buli wiiki. Wewale okuwulula kw‘mmwanyi kubanga kivirako okunoga emmwanyi ezikyali entto/ezitanayengela. Okunuubula obutabi kyanguyizako obulwadde okwata mangu emmwanyi.Nate ela tolinda nnyo mmwanyi kwengela nnyo kubanda nakino kyandisula omutindo gw‘emmwanyi. Nnoga emmwanyi zoona kunkomerelo ya siizoni kubanga kino kitangiraokusasana kw‘obuwuka n‘endwadde z‘emmwanyi. Nga okungula weyambise obuddeya / emikebe emiyinjo.
Okukaza emmwanyi
Kaliza ku tundubaali oba ku kiveera obwa pulasitiika kubanga okukaliza ku tta ely‘elele kikoosa omutindo ate ela emmwanyi okufuna obukuku.Yanjala emmwanyi ela sigala nga oyisamu rake kisobozese emmmwanyi okukala kyekimu.Kuma emmwanyi nga nkalu ela ng‘oziyingiza munju/ sitoowa buli lw‘olaba nga ennkuba nga ebindabinda. Osobola n‘okuzizingira mutundubaali nga enkuba etandisse okutonnya. Kaza emmwanyi okumala enaku 5-6 okukuma omutindo ela kebeera okukalu bwazo nga w‘eyambisa ekyuma ekiyitibwa moisture metre, Okuziluma, okubwatuka nga zilumiddwa mu. Bulijjo kumira emmwanyi mu kutiya ennyonjo, ku mbawo nga tezitudde ku ttaka, ate ela mukifo ekiyiisa empeewo obulungi okwewala okusiika obunyogovu.