Akawuka akaletera okugongobala kw‘ebikoola by‘ennyanya bwebumu ku bulwadde obwamanyi obuleetawo okufiriizibwa okwamanyi era nga bwetaaga okwangangibwa. Bwebwangangibwa obulungi, enva endiirwa zisobola okuleeta amagoba.
Obulwadde obugongobaza ebikoola buleetebwa ekika kyakawuka ekya virus, akasasanyizibwa obusowera obweru bwebunuuna omubisi okuva mukimera n‘ekikosa ebirime ng‘eennyanya, biringanya, cauli flower, obumonde, n‘etaaba. Ebikoola ebipya bibeera bitono, ebyezinga nga bidda wagulu. Okukunkumuka kwebimuli nga tebinnaleeta birimba era ebirime ebikoseddwa birabika nga bikonzibye.
Okulwanyisa kw‘obuswowera obweru
Okuva obulwadde gyebusasaanyizibwa obusowera obweru, okubuziyiza n‘okubulwanyisa kyeraga lwatu nti oba oziyiza okusasaana kwobulwadde . Obusowera obweru buzibu okulwanyisa n‘eddagala ly‘ebiwuka.
Kuuma endokwa okuva eri obusowera obweru ngogibikka akatimba. Weeyambise ebirime ebijja obuwuka ku mulamwa ( trap crops) okugeza nga kasooli, obulo n‘omuwemba. Goba obusweera n‘ebirime ebirina obuwoowo nga coriander, ebinzaali ebiganda. Weeyambise abalabe b‘obusweera abobutonede nga lady bird. Kawunyira oba entuungo enzungu (sunflower) nabyo bibusikiriza nebuva kumulamwa.
Weeyambise obutego obuliko akapapula okuli gaamu bweziba nga teziriwo zekolere gwe kenyini. Ffuyira nga weyambisa eddagala eritta obuwuka lyewekoledde nga weyambisa entanagwuzi, katungulu ccumu ne kamulali ofuuyire ku makya nakawungezi. Ku mutendera okutandikirwako ng‘ekimera kikula, ffuyira nga weeyambisa oil w‘e nniimu okugema okulumbibwa kwobusowera obweru.
Okwanganga obulwadde
Simba ebika by‘ebirime ebigumira obulwadde, kamula ensigo okuva mu bimera ebiramu. Tekako obusa bwawaka, kuula era oyokye ebimera ebirwadde.