Omuti gw‘entende mwangu gwakulumbibwa ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde, naye okusalako amatabi, okutabika ebirime n‘okuggyamu omuddo bisobola okuyamba okubyewala.
Okusalako amatabi y‘emu ku nkola ez‘enkukunala, eziziyiza ebiwuka okubiika amagi gaabyo ku matabi g‘omuti gw‘entende era kyanguya n‘okulinnya. Kino kikolebwa nga bakozesa najjolo ennungi ng‘obukuba bufuuyirirang‘ebirime birina amazzi ekyanguya omulimu.
Okutabika ebirime
Okutabika emiti gy‘entende n‘enva endiirwa kiyamba okusikiriza ebiwuka eby‘obulabe eri ebitonde ebyonoona entende era birya n‘amagi gaabyo. Ebisigalira by‘enva endiirwa ezitabikiddwa bisobola okutabulwa n‘ettaka okwongera ku bugimu bwalyo.
Gya omuddo wansi n‘okwetooloola emiti gy‘entende okuggyamu omuddo. Guno guleeta okukendeera mu bungi bw‘entende nga gukuuma ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde, okuvuganya ku mazzi n‘ebiriisa wamu n‘okwongera ku bungi bw‘amazzi mu mpewoekireeta okuwumba ekireeta ebirwadde.
Okukozesa enkola zino kisobola okwongera ku bungi bw‘entende, omutindo, obunene bw‘ebibala era n‘okuvujjirira okukula kw‘ebirime olwo amagoba ne geeyongera. Zikendeeza ne ku nkozesa y‘eddagala ly‘ebirime.