Ebijanjaalo biribwa munsi yonna era bisobola okulimwa n‘emubisenyi. Singa abantu babeera n‘okumanya kutono kunnima yebijanjaalo, ebiwuka n‘endwadde bibirumba n‘ebikendeeza amakungula.
Okulima ebijanjaalo
Londa ensigo y‘ebijanjaalo esobola okugumira ebbugumu, endwadde ate nga bibala nnyo. okusimba kwalikoledwa mubudde obunnyogovu obwa november ne january okufuna amakungula amalungi. Weekakase nti enfukirira yebijanjaalo etayiwa mazzi ku bikoola byabijanjaalo ekibiretera okwekukuma ebimuli nekisasaanya n‘endwadde.
Okukuuma obugimu bwettaka n‘obunyogovu weeyambisae ebisigalira byebirime ku lwamakungula amangi.
Simba munnyiriri ezamabanga agetadde, ensigo 2-3 buli kinnya zimala okusobola okulekawo ebbanga erimala okukoleramu, kendeeza okuvugannya nokusasaana okwendwadde.
Nekisembayo, Ssaako ebigimusa ebigule/ ebizungu ebirimu ebirungo ebyenjawulo kulwamakungula amalungi nokukula okwawagulu.