Endokwa z‘enva endiirwa zeetaaga endabirira ey‘enjawulo okuba tezeyaamba ate nga zikosebwa nnyo ebiwuka. Eddagala eritta ebiwuka eggule terikoma kukyakuba lyabbeeyi naye era lyabulabe n‘olwekyo weeyambise obutimba bwebiwuka okukendeeza enkozesa y‘eddagala eggule.
Mubiwuka ebikosa ebirime mulimu amakovu,, nsenene bino birya omuddo. Obusaanyi butera kulumba nyanya, mboga ne kamulali. SSo nga bwo obusowera obweru bunyunyunta amasanda mukimera nekikendeeza ku misinde ekirime kwekikulira era busasaanya obuwuka obuleeta obulwadde.
Okukozesa butimba
Bwoba okozesa obutimba osobola okugula obukozeko oba okubwekolera. Bwoba obukola, kola obugazi bwa mita emu ne mita emu obugazi bwabbeedi olwo osobole okumanya sayizi gyoyagala.
Bwomala okufuna akatimba, weeyambise ebikozesebwa ebyabulijjo okuwanirira akatimba era oteme obuti obuwanvu ekimala okufuna obuwanvu bwakatimba obwa 0.5 metre okuva kuttaka.
Simba enkondo mu mabbali aga bbeedi y‘ensigo era ojjeeko obusongezo olwo obikke bbeedi y‘ensigo. Sibako akatimba oketolooze ettaka kanywere.
Oluvanyuma lw‘ennaku 8-9 jjako akatimba ojjeko n‘ebyewabikakko oluvannyuma wa ekisikirize bbeedi singa omusana guba guyitiridde. Bwoba onotera okusimbuliza, jjako akatimba.