Kaamulali akozesebwa nga ekirungo munsi yona olw‘akawowoke/edekende. okukola ensaano ya kamulali y‘engeri ennungi ey‘okukolamu sente ate nga yetagisa obudde butono.
Ku lw‘omutindo bw‘ensaano, kozesa kaamulali owekkika ekimu. Kaamulali kirungi nakungulwa nga taliko bukond(stalks).
Obuyonjjo ekiseera kyona
Kaamulali mwozze ela ojjemu avunze n‘eyayononeka. Kazza kaamulali bulungi nga weyambisa ekaliizo ely‘omuka(solar drier) oba omusaana okumala enaku 5-10. Kaamulali oggulwa okuva mukataale yetagisa okulondebwa, okwozebwa ela nakazibwa.
Okwongela edekende/akawoowo, yongela mu ebirungo nga omunnyo, entangawuzzi enkalu, katungulu ccumu ne kaamulali omunene. Omunnyo gw‘ongelamu ekiwomeleze ate ela gweyambisibwa nga ekirungo ekyongela kubuwangazi. Ssekula/saa bulikimu mu kyuma ekiyonjo okusoboola okufuna ensaano ense obulungi.
Leeka ensaano ewole olyoke ojjise mu bu ccupa obuyonjo ate nga bukalu.Bwekiba nga obu ccupa obugenda okozesebwa babukozesako dda, bwoze bulungi ddala ne sabuuni, amazzi ne daggala elijamu langi. kuma obuyonjo ekiseera kyona.
Tekako laama, n‘erinnya yakampuni wamu n‘ebiseera elisubilwa kaamulali okuba nga akyali mulamu/wanayitilako.