Omuddo gusasana okuyita mu nsigo, empewo, obusa bw’ente oba ne magetisi zisobola okugutambuza. Obulwadde bw’okuzingama mu bisagazi (Napier stunt diseases) butegeza nti ekisagazi kiba kimpi nga tekivaako bikoola biwera. Akabonero k’obulwadde buno kuliko ebikoola okufuuka kyenvu. Ebisagazi byo bwebiba nobulwadde buno, ekisinga obulungi kwekukikuula , nokizika oba okwokya ebimera ebikosebwa.
Ebika by’omuddo
Osobola nokusimba ebika ebirala nga mukonzikonzi oba ebisagazi ebigumira endwadde. Mu kino nga ebisagazi bwebikwatibwa obulwadde kisigala kirina ebikoola ebirungi eri ente.
Waliwo engeri ezenjawulo okusimbamu ebika bino: osobola okukola beedi oluvanyuma n’osimbuliza oba osobola okusimbira ddala ensigo mu ttaka nga enkuba etonya; era osobola okusimba emuli ezitemedwatemedwa, kino nga kirungi bwoba ogaziya poloti ebadewo.
Okufukirira omuddo
Wekakase nti ofukirira omuddo oluberera naddala nga gukyali muto, kino kijja kuyamba okwewala ebiwuka nga ensanafu. Okuva mu nsigo okutuuka ku kukungula, kitwala wakati w’emyezi enna kw’etaano, era omanya nti obudde butuuse nga ebikoola bitandise okuleeta ebimuli. Kikulu nnyo okukola hay ne silage osobole okubeera n’omuddo ogumala okuyita mu mwaka naddala nga omusana gwaka era nga ebbeyi y’amata eri waggulu.
Jjukira okukuuma ente nga namu olina okukakasa nti ozirisa emere oluberera era nga emala. Ente emu yetaaga ebitundu 3 ku buli 100 kyobuzito bwayo buli lunaku. Ente enamu nga ezitowa kilo 380 ezo ziba kilo 11 oba gamba ekinywa ky’omuddo omukalu buli lunaku, ekirimu nga kilo 60 ez’omuddo omubisi. Bwoba werimira omuddo gwo, ojja kwetaga yiika emu enamba okuliisa ente emu, ey’amata (heifer) nakayana buli mwaka. Era ojjukirenga okubera n’amazzi amayonjo. Ente ezirisibwa obulungi zivamu amata amalungi nga mangi.