Kubanga omuddo gwa kayongo gukulira nnyo mu ttaka eritali ggimu, kikulu nnyo okukuuma ettaka nga lirimu amazzi n’ekigimusa mu kulwanyisa omuddo ogwonoona ebirime ogwa kayongo. Enkola ennungi ate ennyangu ey’okukuuma ettaka nga ggimu yeeyo y’okuteeka nakavundira.
Ekigimusa ekitali kya butonde n’ekikoleddwa mu bintu by’obutonde bijja kuyamba mu kulwanyisa omuddo gwa kayongo wabula ekigimusa ekitali kya butonde kya busere. Nakavundira asingira wala ekigimusa ekipya kubanga ekigimusa ekikyali ekipya kisobola okwokya ebimera, naddala mu ttaka ery’olusenyusenyu. Okwongerezaako , ekigimusa ekipya kibaamu ensigo z’omuddo ogwonoona ebirime. Nakavundira ajja kwongera ku kikula ky’ettaka n’okukuumiramu obunyogovu okumala ebbanga eddene.
Okukola nakavundira
Nakavundira asobola okukolebwa mu bisagalira by’ebirime eby’empeke, ebisigalira by’ewaka, ebikoola ebigudde n’ebivudde mu bisolo. Kyetaagisa amazzi. Mu nsi ez’obunyogovu oba mu budde bw’enkuba olina okutereka nakavundira mu ntuumo aleke ku nyogoga. Mu bitundu eby’ebbugumu olina okukola ekinnya, nakavundira okusigala ng’awewera ekimala.
Osobola okutereka nakavundira agenda mu yiika 14 (hectare) mu kinnya ekiweza obuwanvu bwa miita 4, obugazi bwa miita 2 n’ekitundu kya miita mukukka. Gattamu enseke ,ebikoola ebigudde n’ebisaigalira y’omuwemba oba obulo. Okuyambako enseke okuvunda, osobola okuzisala oba n’oleka ebisolo nebiziyitamu oba okuzifukamu.
Oluvanyuma oyinza okugattamu ebisigalira okuva mu kiyungu oba obubi okuva mu nsolo. Wano gattamu evvu. Kakasa nti ofuukirira buli mutendera. Singa ekinya kiba kijjudde, kibikke n’ettaka eddungi, ebisansa oba emikeeka emikadde , okukasa nti asigala muwewevu. Singa akala, osobola okuyiwamu amazzi. Oluvannyuma lw’emyezi ebiri oba essatu nakavundira aba awedde okwetonda.
Okuteekamu nakavundira.
Osobola okusaasanya nakavundira mu nnimiro n’okumuteeka mu ttaka. Ku lunaku lwe lumu osobola okutandika okusimba ebirime . Oluvanyuma nga wakasimba osobola okuteeka nakavundira mu binnya ebitono oba olusalosalo.