Ebiwuka ebiriibwa okukendeeza ssente ezigula emmere, okuzitoya enkoko amangu, okwongera okukula n’enneeyisa.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=-sEhBFrpHXE&t=8s

Ebbanga: 

08:20:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2023

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agribusiness Insider
Namatimbo w'ebiwuka ebiyitibwa black soldier flies ayongeza okukula, obuzito n'amagoba mu kulunda enkoko z'ennyama. Okwongerezaako, namatimbo ono alimu ebirungo ebiwera okugeza amino acids, ekiriisa ekigumya amagumba n'amannyo, phosphorus n'amasavu ebiyamba ku nkuba y'emmere mu lubuto, okuzitoya, obusobozi bw'okulwanyisa obulwadde n'okukendeeza emmere eriibwa. Namatimbo w'ekiwuka ekiyitibwa black soldier fly asobola okuliisibwa enkoko z'ennyama nga wa buwunga oba nga mulamu.
Emiganyulo gy’ekiwuka ekiyitibwa black soldier fly
Ekisooka, namatimbo ono ayongeza ku mirimu gy’enkoko olwo ne kiyamba okwewala okusannyalala, obulwadde n’okuyamba okusaasaanya amasavu. Era aziyiza n’okuggyawo obulemu, ayongeza obusobozi bw’okulwanyisa obulwadde n’obuzito. Ekirala, ayongeza ku buwangaazi bw’enkoko z’ennyama okutuuka ku bitundu 80%, alimu ekiriisa ekizimba omubiri ekiyamba okwongeza obusobozi bw’okulwanyisa obulwadde. Ekisembayo, ayongeza ku nkuba y’emmere mu lubuto n’okukendeeza ku mmere eriibwa.
Enteekateeka n’endiisa
Tandika na kufuna namatimbo w’ebiwuka ebiyitibwa black soldier fly, oluvannyuma omuttise amazzi agookya, mukaze, omuse afuuke ensaano olwo oteeke ebitundu 10% eby’ensaano ekoleddwa mu mmere y’enkoko z’ennyama. Mu ngeri endala, enkoko osobola okuziwa namatimbo omulamu kubanga na kino kiwa ebivaamu ebirungi.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:58Namatimbo w'ebiwuka ebiyitibwa black soldier flies ayongeza okukula, obuzito n'amagoba mu kulunda enkoko z'ennyama
00:5901:16namatimbo ono alimu ebirungo ebiwera okugeza amino acids, ekiriisa ekigumya amagumba n'amannyo, phosphorus n'amasavu
01:1701:42Ebirungo bino biyamba ku nkuba y'emmere mu lubuto, okuzitoya, obusobozi bw'okulwanyisa obulwadde n'okukendeeza emmere eriibwa
01:4302:32Emiganyulo: namatimbo ono ayongeza ku mirimu gy'enkoko olwo ne kiyamba okwewala okusannyalala, obulwadde n'okuyamba okusaasaanya amasavu.
02:3303:39Era aziyiza n'okuggyawo obulemu, ayongeza obusobozi bw'okulwanyisa obulwadde
03:4004:57ayongeza obuzito n'obuwangaazi bw'enkoko z'ennyama okutuuka ku bitundu 80%
04:5806:00alimu ekiriisa ekizimba omubiri ekiyamba okwongeza obusobozi bw'okulwanyisa obulwadde n'enkuba y'emmere mu lubuto.
06:0107:12Akendeeza ku mmere eriibwa. teeka ebitundu 10% eby'ensaano ekoleddwa mu mmere y'enkoko z'ennyama
07:1307:26funa namatimbo w'ebiwuka ebiyitibwa black soldier fly, omuttise amazzi agookya, mukaze, oluvannyuma omuse afuuke ensaano olwo omugatte mu mmere y'enkoko z'ennyama.
07:2708:20Mu ngeri endala, enkoko osobola okuziwa namatimbo omulamu kubanga na kino kiwa ebivaamu ebirungi.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *