Obubonero n’endabika
Waliwo obubonero obulala obweyoleka ku binnyonyi ebirwadde nga muno mwe muli; amaziga okuva mu maaso, ssenyiga n’ekifuba. Naye okusiigako eddagala lya mannyo ku bulwadde obuyitibwa fowl pox kibuwonyeza ddala kuba kiziyiza n’okusaasaana kwabwo
Okujjanjaba nga weyambisa eddagala lya mannyo
Tandiika ng’osiigako eddagala lya mannyo ttono ku bitundu by’okungulu ewali ebizimbye, naye olina okwegendereza nga osiigako eddagala lino lireme kugenda mu bitundu by’enkoko ebimu nga amaaso kuba kino kigireetera okusiyibwa . Ku ludda olulala enkoko bweba eva amaziga mu maaso siigako eddagala lya mannyo n’obwegendereza ku buzimba obuli okumpi n’amaaso.