Okunnyika ensigo z’ebirime by’empeke mu ddagala ng’okozesa engeri y’obutonde

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/organic-coating-cereal-seed

Ebbanga: 

12:16:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Access Agriculture, IVTSANE
Okubikka ensigo ng’okozesa obutonde bikuuma ensigo okuva eri ebinnyonnyi n’ebiwuka,era kiwa endokwa obuweweevu n’ebirungo.Era osobola okusiga ensigo ezibikiddwa amangu ng’enkuba tenatandiika kuttonnya.

Ng’engeri y’okugunjawo ekippya mu balimi ab’enjawulo,okubika ensigo z’emmere y’empeke kw’ongeza ku makungula g’ebirime mu bitundu ebikuwereddwa.

Okusinzira nti amazzi g’enkuba,ebigimusa n’ebirungo binnyikira ebirime webibyetaaga ,abalimi basiga ensigo mu binnya ebimpi nga biteekeddwa mu nakavumbira wabula ebirime bisobola okosebwa amazzi agalegama ,ebinnyonyi n’ebiwuka.
Okujjanjaba ensigo
Kubanga abalimi bajjanjaba ensigo nga bakozesa eddagala ery’obulabe erikolebwa mu makolero,kino kivaako kukosa obulamu bwabwe. Wabula abalimi bakyusa ekikula ne langi y’ensigo okusobola okwewala ebitonde ebizoonona nga bazibika nga bakozesa ekirungo ekitabuddwa mu  obussa,ebbumba,nakavundira,amazzi n’evvu.Wetubikka ensigo,olwo kiro 3 zokka ez’omuwemba  ze zeetagibwa okusibwa ku buli yiika 11 wogeragerannya ku kiro 6 ez’ensigo ezitabikiddwa.
Mungeri yemu, kiro emu ey’ensigo,kiro nnya ez’ebbumba zetaagibwa awamu ne kiro 2 eza nakavundira ne kiro 1 eyevvu omutali kasasiro yenna.Sekula ebbumba,nakavundira n’evvu bifuuke ensaano,era ensigo oziteeke mu baafu omansireko amazzi zisobole okuweweera era otabule ebirungo ebisekuddwa oba obigatte mu kimu ku kimu osobole okugezesa ensigo.
Yongera okunnyenya ebbaafu mpola osobole okubika ensigo obulungi,era oddemu omansire amazzi ku nsigo era oyongere okuteeka ensaano ku nsigo eziwewedde.Ebbaafu ginnyenye okumala eddakiika 3 okutuusa ng’ensigo zibikiddwa bulungi era oziteeke ku tundubaali zisobole okukala era ozisiimbe nga wayisewo olunaku lumu nga zikaze.Zisimbe ng’enkuba esooka tenatandiika kubanga ensigo ezibikiddwa nnyangu okukwasagannya.
Mukumaliririza,mukusiga ensigo ennyingi kozesa ekyuma ekisiga.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:36Abalimi basiga ensigo mu binnya ebimpi ebirimu nakavundira.
00:3700:51Amazzi,ebintu by'obutonde,n'ebirungo biinnyikira awo ebirime webibyetaagira.
00:5201:12Ebirime bikosebwa amazzi agalegama,ebinnyonnyi n'ebiwuka
01:1302:05Abalimi bajjanjaba ensigo nga bakozesa eddagala ery'obbulabe erikolebwa mu makolero
02:0603:30Abalimi bakyusa ekikula ne langi y'ensigo
03:3104:43Abalimi babikkka ensigo nga bakozesa amazzi n'obussa
04:4405:01Okubikka ensigo,wetaaga evvu omutali bisasiro wadde
05:0205:08Ssekula ebbbumba,nakavundira n'evvu omutali kasasiro
05:0905:16Ensigo ziteeke mu bbaafu era ozimansireko amazzi
05:1705:33Tabula ebirungo ebisekuddwa era onnyenye ebbaafu mpola osobole ookubikka ensigo obulungi
05:3405:41Era ddamu omansire amazzi ku nsigo era oyongeremu ensaano yo ku nsigo
05:4206:46Nnyenya ebbaafu okutuusa ng'ensigo zibbikkiddwa bulungi
06:4707:01Ensigo ezibikiddwa ziteeke ku tundubaali ozikazze era ozisige oluvannyuma lw'olunaku lumu ng'omazze okuzikaza.
07:0207:58siga ng'enkuba esooka tenatandika
07:5908:23Ensigo weziba ennyingi kozesa ekyuma ekisiga
08:2412:16Obufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi