Engano n’ekirime ekya barley biri mu birime eby’omugaso eby’empeke mu nsi yonna, wamu n’omuceere ne kasooli, naye bikosebwa endwadde z’olukuku ezikuba ebiba ebya kitaka ku bikoola ekikendeeza amakungula.
Okusobola obulwadde buno osimba bika bya kirime ebitalumbibwa bulwadde obwo. Ebika bino bikendeeza ku kulumbibwa kw’obulwadde buno. Okuteeka eddagala ku nsigo kitangira ensigo okulumbibwa obulwadde bw’olukuku obukuba ebiba ebya kitaka, era kya mugaso okukuza ebimera ebiramu. Osobola okusiiga ensigo omusulo gw’ente oba obusa ku nsigo z’ebirime. Okusiiga ku nsigo eziweza kkiro emu, tabula omusulo gw’ente ekitundu kya ggiraasi mu kikopo kimu eky’obusa ente bwe yaakafuluma. Nnyika ensigo mu lutabu olwo ozaanike mu kasiikirize nga tonnaba kuzisimba. Ensigo era ziyinza okusiigibwa ekika ky’obutiko obumanyiddwa nga trichodema.
Okuziyiza obulwadde buno mu nnimiro
Bulijjo lawuna era olondoole obulwadde bw’olukuku obukuba ebiba ebya kitaka ku bikoola nga obudde buweweevu oba nga bwa nkuba. Mu nnimiro, osobola okufuuyira olutabu olw’obutonde olw’ekitiko ekimanyiddwa nga trichoderma oluvannyuma lwa wiiki ssatu nga osimbulizza.
Osobola okwekolera eddagala ery’obutonde eritta obulwadde bw’olukuku nga ogatta olubatu lumu olw’obusa bw’ente, ekitundu kya liita ey’omusulo, embatu bbiri ez’ebikoola by’omuti oguyitibwa neem obitabule mu liita kkumi ez’azzi. Olutabu olwo lukuumire mu kasiikirize okumala ennaku bbiri oluvannyuma osengejje. Okufuuyira ekitundu kya hectare oba yiika emu n’ekitundu, olutabu olusengejjeddwa lutabulemu liita z’amazzi bibiri mu ataano, ofuuyire ku makya oba olweggulo.
Mu mbeera nga byonna ebyo waggulu biremye, fuuyira nga okozesa amata agafudde ne gaterekebwa ennaku wakati w’ekkumi ku kkumi na ttaano. Okufuuyira ekitundu kya hectare oba yiika emu n’ekitundu, tabula liita musanvu ez’amata agafudde mu liita bibiri mu ataano ez’amazzi ofuuyire.
Osobola era okugatta ekitundu ky’ekibaafu ekya doodo omumyufu omukalu asekuddwa, omuddo oguyitibwa mminti oba ebikoola ebizzaamu omusaayi biyite hibiscus, bitabule mu liita bibiri mu ataano ez’amazzi. Bitereke bisulewo obisengejje osobole okufuuyira olunaku oluddako era oddemu oluvannyuma lw’ennaku kkumi na ttaano.