Engeri y’okukendeezaamu ensimbi ezigenda ku mmere y’enkoko ebitundu ataano ku buli kikumi.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=Z45YgiIu6Cs&t=39s

Ebbanga: 

00:13:02

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Best Farming Tips
» Akatambi kano kagenda kukusomesa engeri y'okukendeezaamu ensimbi ezidda ku kugula emmere y'enkoko, nga si kukuyigiriza kwetabulira oba kwekolera mmere waka, wabula nga okaatuusa bukaatuusa mmere ya nkoko. Okukaatuusa emmere y'enkoko nkola nnyangu era ennungi eri obulamu esingako mu kuliisa enkoko zo «

Okuliisa enkoko kitwala ebitundu nsanvu ku buli kikumi ku nsimbi zonna esisaasaanyizibwa mu bulunzi. Ssente zino ziyinza okukendeezebwako nga okaatuusa bukaatuusa mmere ya nkoko okumala ennaku ssatu.

Emmere enkaatuuse ya mugaso eri ebirundibwa byonna, era ensolo zifuna ebiriisa byonna ebisobola okufunibwa okuva mu mmere enkaatuuse. Okukaatuusa emmere y’enkoko kiyamba mu kukuba emmere eyo mu lubuto lw’enkoko nga kireeta obuwuka obusirikitu obw’omugaso. Okwongerezaako, okuliisa ebisolo emmere enkaatuuse kikendeeza ki asidi abeera mu lubuto, kireetawo okwenkanyankanya enkuba y’emmere mu lubuto era kisobozesa ebiriisa okuggibwa mu mmere. Wabula, weewale okuteeka emmere mu bintu eby’ekyuma kubanga bino byonoona emmere.

Ebirungi ebiri mu kukaatuusa emmere

Okukaatuusa kuyamba okwongera ku buzito bw’amagi, kyongera ku bulamu bw’ebyenda ekireetawo omuziziko ogw’obutonde eri obuwuka obuleeta endwadde. Ate era kyongera ne ku buwuka obusirikitu obw’omugaso.
Okwongerezaako, okukaatuusa emmere y’enkoko kukendeeza obuwuka obuleeta endwadde mu byenda, bulongoosa engeri emmere gy’ekubwamu mu lubuto era kiyambako ku mubiri okufuna ebiriisa okuva mu mmere.
Era, ebisolo era birya emmere ntono enkaatuuse, ate kyongera ne ku bungi bw’amazzi ensolo ge zinywa era ekivaamu kwe kukendeeza ku ssente ezisaasaazyizibwa mu bulunzi. 
Ekisembayo, okukaatuusa kuleeta ebirungo omuli ekya vitamiini n’ekirungo ekizimba omubiri mu bisolo era kino kiwa ekisolo obulamu obulungi.

Engeri y’okukaatuusaamu emmere y’enkoko

Tandika na kukaatuusa ebitundu nkaaga mu mukaaga ku buli kikumi eby’emmere gy’obaddenga owa enkoko buli lunaku. Wabula weewale okukozesa amazzi agatabuddwamu eddagala eritta obuwuka, anti lino litta n’obuwuka bwonna obw’omugaso.
Oluvannyuma, teekamu amazzi agabikkira ddala emmere, olwo obikkeko ekintu mw’otadde emmere okumala ennaku ssatu nga bw’ogitabulamu emirundi esatu buli lunaku okuyingizaamu omukka ogw’obulamu wamu n’okwanguya ku kukaatuuka.
Bulijjo laba nga oyongeramu amazzi okutangira obuwuka obw’obulabe. 
Okwongerezaako, oluvannyuma lw’ennaku ssatu, jjamu amazzi olwo emmere ogiwe enkoko. Wabula, enkoko ziwe emmere gye zisobola okumalawo osobole okutangira emmere okukukula. 
Ekisembayo, oluvannyuma lw’okukola emmere, yonja ebyo mw’okaatuusirizza emmere okwewala obukuku awamu n’okutangira obuwuka obusirikitu obuleeta endwadde. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:23Okukaatuusa emmere y'enkoko okumala ennaku ssatu kikendeeza ssente z'osaasaanyiza ku mmere y'enkoko.
01:2402:07Okukaatuusa emmere y'enkoko kiyamba mu kukuba emmere mu lubuto lw'enkoko, emmere yonna ey'enkoko esobola okukaatuusibwa.
02:0803:03Emmere enkaatuuse nnungi eri ebirundibwa byonna era eyambako okukendeeza ku bungi bw'emmere ensolo gye zirya.
03:0404:01Nga okaatuusa emmere ey'empeke, laba nga oyongeramu amazzi nga bw'ogaggyamu buli lunaku okutuusa emirandira lwe gimera.
04:0204:56Okukaatuusa emmere kirungi era kireeta obulamu obulungi mu binyanyi ebirundwa, kyetaaga emmere ntono era kyerula ebiriisa.
04:5705:52Okukaatuuka kukendeeza asidi mu lubuto lw'enkoko, kireetawo okwenkanyankanya mu kukuba kw'emmere mu lubuto era kireetera omubiri okufuna amangu ebiriisa ebibeera mu mmere eyo.
05:5306:33Emiganyulo egiri mu mmere enkaatuuse mulimu; amagi geeyongera obuzito, kyongera ku bulamu bw'ebyenda, era kyongera ne ku buwuka obw'omugaso obusangibwa mu lubuto oba ekyenda ky'enkoko.
06:3406:50Kikendeeza obuwuka obuleeta endwadde mu byenda by'enkoko, kyongera ku kukua kw'emmere mu kyenda wamu n'okwongera ku ngeri ebiriisa gye biggibwa mu mmere.
06:5107:59Okulya emmere entono, kyongera ku bungi bw'amazzi ge zinywa, kireeta ebiriisa omuli ekirungo kya vitamiini n'ekizimba omubiri.
08:0009:02Okukaatuusa kutwaliramu; kaatuusa ebitundu nkaaga mu mukaaga ku mmere gy'obadde owa enkoko buli lunaku.
09:0310:00Kozesa emmere y'enkoko ekika kyonna n'ey'empeke, era kozesa mazzi agataliimu kirungo ekitta obuwuka.
10:0110:20Teekamu amazzi gabikke emmere, oluvannyuma bikkako okumala ennaku ssatu nga bw'otabulamu emirundi esatu buli lunaku.
10:2112:06Teekamu amazzi entakera, oluvannyuma lw'enaku ssatu ggyamu amzzi era enkoko oziwe emmere eyo.
12:0712:33Enkoko ziwe emmere gye zisobola okumalawo okugitangira okukukula, era oluvannyuma yonja ebyo byonna bye weyambisizzza mu kukaatuusa emmere eyo.
12:3413:02Weewale okukozesa ebintu eby'ekyuma okusobola okutangira okwonoonebwa kw'emmere.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *