Okusimba ekirime kya Teff munyiriri kikendeeza ku muwendo ogusasaanyizibwa era kyongera amakungula wabula nga tonaba kusimba longoosa, kabala era oseteeze ennimiro.
Okusimba ekirime kya Teff kulimu emiganyulo mingi nga okufissa ensigo, ekirime okumera obulungi, kyangu okutangira emiddo n’ebiwuka eby’onoona ebirime, kyongera amakungula era kitaasa sente.
Ebikozesebwa
Ensigo 3-5 eza Teff buli yiika kumi nanya, emiti, emiguwa, emiti egiyina obuwanvu bwa 20cm, ebigimusa bya DAP ne Urea kubungi obukubirizibwa buli yiika kumi nanya. Siba emiguwa ku miti era ogikomerere mu ttaka ku buli ludda lwa nnimiro mumabanga ga 20cm wakati wenyiriri. Sima emikutu 3-4 okutambulira ku nyiriri, kozesa ebigimusa bya DAP era obibikeko ettaka tono. Simba ensigo munyiriri era ozibikeko obungi bwettaka lya 2-3cm kubanga ettaka eringi lijja kugaana ensigo okumeruka. Ekirime bwekituuka mubuwanvu bw’olukokola kozesa kilo 50 ez’ebigimusa bya Urea buli yiika kumi nanya era okiddemu oluvanyuma ly’omweezi 1.