Obulunzi bw’ebinyonyi sibuko yamaanyi ey’ekiriisa kya protein okuva mu bisolo era ekikolwa ekivaamu ensimbi kubanga ebinyonyi n’ebyo ebibivaamu bikola sente awaka saako n’obutale wabweeru we ggwang.
N’okwongerako emitendera mukuziyiza enddwade kikulu nnyo mubulunzi bw’ebinyonyi. Kulw’okufunamu ennyo ebinyonyi biteekeddwa okuweebwa emere erimu ebirungo. Bulijo nga oteekateeka okuteekawo eddundiro ly’ebinyonyi bulijo tunuulira okubeerawo kw’amazzi nga omutindo, obuwanvu, amaanyi kwegatambulira, ebirungo ebigalimu, wamu nengeri y’okugatuukako.
Endabirira
Kakasa nti emere ebeera kubuwanvu bweebumu n’ebinyonyi, kino kiyamba okukendeeza kukw’ononeka kwe mere.
Eky’okubiri gema enddwade z’ebinyonyi era ozisale emimwa okuziyiza emize emibi. Nekirala oluvanyuma lwemyeezi 3 kyuusa ebinyonyi obiteeke webibiikira era obiwe emere, amazzi era buli kiseera olonde amagi.
Buli kiseera kakasa emitendera gy’okutangiramu enddwade era wewale okufutiika ebinyonyi okutangira okubalukawo kw’obulwadde.
Kakasa nti olambula ebinyonyi okumanya engeri gyebibiikamu, okubalukawo kw’obulwadde era ebinyonyi biwe amazzi agamala kubanga ebinyonyi by’etaaga amazzi okusinga emere.
Mukw’eyongerayo, tendeka enkoko okunyweera kubinyweero ebizungu ate era wanika ebisulo byenkoko kalimbwe okusobola okukala amangu. Mukugattako, kakasa okuyingira n’okufuluma kwempewo munyumba zenkoko okukendeeza ku bugumu nekabiro.
Ekisembayo kendeeza mukwongera ku binyonyo, kyuusakyuusa ebisulo ate era oyogere n’abakozi bulungi okusobola okufunamu ennyo.
Emigaso gy’okulundira mu butimba
Mukusooka, ennunda eno eyamba munkuuma y’obuyonjo era n’okufuna amagi amayonjo.
Era eyanguya nemukulabirira enkoko obulungi kubanga yetaaga abakozi batono.
Mukw’eyongerayo ekakasa okugema kw’okuwa eddagala nga liteekebwa mukamwa kenkoko olw’okubanga eddagala litekebwa mu pipa y’amazzi omulundi gumu.
N’ekisembayo ennunda eno eyanguya mukukebera kunkoko wano kwekukakasa eby’okwerinda era n’okwanguya okulaba obulwadde obuba bubaluseewo.