Ebijanjaalo bya soya kirime kyamugaso eri abalimi, abasubuzi wamu n’obabirya kubanga kivaamu sente, emere eri abantu ababirya ate era n’okugatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka.
Okulima ekirime nga kino kyetagisa bukodyo butona ete obwangu olw’okwongera kubungi bwemere naye ate nga tonaba kwetabna mubino byonna oyina okutandika omulimu guno nga ofuna ensigo ennungi era ekakasiddwa okuva mubifo eby’esigika.
Ennima ya soya
Sooka olongoose ekifo aw’okulimira era oyokye ebisubi ebingi, ku ttaka eritakabaddwa fuuyira enimiro okutta omuddo ogumeruka era okabale ettaka okusobola okufuna ekika kyettaka erikubirizibwa oluvanyuma osimbe kumabanga ga 5-10cm mumakati genyiriri wamu ne 60cm mumakati ge nyiriri era oluvanyuma lwenkuba simba mubinya by 1-2cm mubuwanvu era osimba ensigo 1-2 era obikeko nettaka tonotono.
Kakasa nti buli kiseera otangira omuddo naddala wakati wennaku 5 ne nnaku 35 oluvanyuma lw’okusimba okuziyiza okulwanira kwebiriisa era nekisembayo kungula nga ebikoola byekirime bifuuse byakyenvu, bikungganyize mukifo kimu okwanguya ku kukungganya kwebijanjaalo nga bigwa okuva mubisusunku.