Ennyanjula ku nsalosalo ez’enkalakkalira ezisimbibwako ebirime.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=H-IZCHlVJZk

Ebbanga: 

00:03:11

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

RUVIVAL
Ensalosalo ez'enkalikkira ezisimbibwako ebirime zirimu n'ekintabuli ekiyiziza okutwalibwa kw'ettaka naddala ku kaserengeto. Omugaso gwayo gwe 'gw'okuziyiza okutwalibwa kw'ettaka n'okuzimba ettaka ateera ng'otaddemu amaanyi matono n'okuddabiriza. Omutendera gwonna nga weyambisiba ebintu ebiwanvuyirivu n'ebitewese okuva mu mii emiramu. Kino kyongeza nnyo obusoobozi n'okuwangaala. Ate mu ngeri y'emu bireeta ensimbi nga bikola nga emmere y'ebisolo n'ekigimusa oluvanyuma lw'okumalawo emyezi mitono. Enkola eno eraga ekika ky'okuziyiza ettaka obutatwalibwa mazzi ekiyinza okuwa abalimi omukisa naddala mu nsi ezikyakula. Enkola zino zisobola okuteekebwamu amazzi g'enkuba. Okukungula/ akakodyo kw'okweyambisa obulungi ebifo awava amazzi.

Okutwalibwa kw’ettaka kye kimu ku nsonga ezitawaanya abantu mu nsi okusobola okufuna emmere. 

 Okubulwa ekifo walundibwa n’enkola y’okulima nga beeyambisa eddagala okugeza okulimisa ente, okusimba ekika ky’emmere ekimu n’obutaza buggya bisigalira okuva mu butonde kireka ettaka nga teribikiddwa. Embuyaga n’enkuba bivirako ettaka okutwalibwa era nga kino kikosa nnyo  ennimiro eziri ku kaserengeto.
Okukendeeza ku kutwalibwa kw’ettaka
Ebikko n’ensalosalo z’enkola zezisinga okukozesebwa okuziyiza okutwalibwa kw’ettaka. Ebikko bikolebwa nga balima emifulejjo ku nsalo  n’okutuuma ettaka ku ludda olw’olusozi  wansi 
 Ensalosalo zigala okufaananamu ebikko. Era zizimbibwa ku lusalosalo nga baddamu batereza akaserengeto mu mitendera egy’enjawulo  ebiseera ebisinga nga gya mayinja. Mukoka akendeezebwa n’ekimuwa akaseera okunyikira mu ttaka.
Omuddo gulina okusimbibwa ku nsalosalo okuva mu ntandiikwa.
Okuzimba ensalosalo ezisimbwako ebirime ez’enkalakkalira
 Okusobola okuzimba ensalosalo ezisimbwako ebirime ez’enkalakkalira, emiti gisimbibwa naddala ku lusalosalo lwa kaserengeto. Singa emiti gikula ne giweza obuwanvu obwa  mita  ez’enjawulo , gisalibwa era ne giteekebwawo buwanvu mu makati g’ebikoleddwa okuva mu miti okusobola okufuna ekintu ekyawamu  ekiwanvuyirivu n’ekitewesemu.
 Mu kulonda emiti egisimbibwa oluvanyuma lw’okugisala, amatabi agasaliddwako gakola emirandira singa gaba gakonye ku ttaka era mu ngeri eno, omuti gwonna gujja kuba mulamu, mugimu ateera  nga muggumu okusinzira ku mirandira.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:35Okutwalibwa kw'ettaka y'emu ku nsonga esinga okukosa abantu mu nsi yonna okufuna emmere.
00:3600:55Okutwalibwa kw'ettaka kukosa nnyo ennimiro eziri ku kaserengeto
00:5601:38Okutema ebikko n'ensalosalo bwe bukodyo obusinga okukozesebwa mu kuziyiza okutwalibwa kw'ettaka
01:3901:59Omuddo gulina okusimbibwa ku nsalosalo okuva mu ntandikwa
02:0002:40Okuzimba ensalosalo ezisimbibwako ebimera ez'enkalakkalira
02:4102:59Emigaso gy'ensalosalo ezisimbibwako ebimera ez'enkalakkalira.
03:0003:11Okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *