Mu kiseera nga ebimera bikyusa ekitangaala okufuula omukka omulamya ebimera bigatta omukka ogutetaagisa okuva mu mpewo n’akasana okukolamu ekirungo kya sukaali omwangu n’emmere ezimba omubiri. Naye nga bw’omanyi abantu, ebimera tebisobola kubeerawo lwa kirungo kya sukaali n’ekiriisa ekizimba omubiri byokka.
Ekirungi, mu bimera, mulimu ebirungo bingi munda mu byo n’ebyo ebikola ettaka mpozzi n’ekigumusa ekitalimu kirungo kya carbon. Singa ebimera ebivunze n’ekigimusa ekikoleddwa okuva mu butonde kiggwa ku ttaka, kivundizibwa mangu obuwuka obusirikitu. Ebiriisa olwo n’ebigenda mu ttaka nga biyita mu kimera. Olwo ebimera ebiddamu okusimbibwa binyikira bulungi ebirungo awo okuzza ebirungo obuggya ne kutandiika nate.
Okuzza obuggya ebirungo
Ffe abantu tuggyamu ebirungo bwetuba tuggya emmere mu nnimiro, naye bino byanguwa okuddamu singa obuwuka obusirikitu buleeta ebirungo okuva ewazimbibwa ettaka.
Ku mutendera gw’ okugatta obutundu bw’ettaka , ewazimbibwa ettaka wabawo obutundu obw’ebw’ettuuma obukwata ebirungo bya nitrogen, phosphorous, nitrogen, boron, calcium, iron n’ebirungo ebirala ebirime bye byetaaga. Nga olina ettaka eriziddwa bulungi obuggya, ebimera bisobola okuziyiza okuzzibwa obuggya kw’ebirungo mu bifo ewali emirandira.
Okunyikira kw’ebirungo
Ebimera biteeka ekirungo kya sukaali n’ekiriisa ekizimba omubiri gw’ekikola mu kiseera ky’okukyusa ekitangaala okukifuula ekirungo kya sukaali mu ttaka okusobola okuliisa obuwuka obusikirikitu n’obwa fungi. Kino kiviraako omuwendo gw’obuwuka obusirikitu n’obwa fungi okweyongera ennyo.
Obuwuka obusirikitu n’obwa fungi bufuna butandika okunoonya ebirungo okuva mu kigimusa ekikoleddwa okuva mu butonde n’ekifo awazimbiddwa ettaka, n’okunyikira kw’ebirungo mu mibiri gyabwo. Obuwuka obusirikitu obulya obuwuka obulamu busikirizibwa era n’ebutandika okulya obuwuka obusirikitu n’obwa fungi.
Okulemerako
Ebiva mu butonde ebirekeddwawo obuwuka obulya obuwuka obulamu bibeera ebirungo bingi nnyo. Era bino bisobola okunyikira mu mirandira gy’ekimera olwo ekimera n’ekisobola okuza amagoba.
Ekimera era kikyusa ekirungo kya sukaali n’ekiriisa ekizimba omubiri mu birungo byonna ebyetaagisa.Kino kiviraako ebimera okunyirira, ebimera okuwangaala n’emmere y’abantu okubamu ebirungo ebingi eya bantu. Singa olina ettaka eriziddwa obuggya, ebimera bisobola okufuna ebirungo byonna bye byetaaga.