Okulima ebirime awamu n’emitti kulungi nnyo mu kuyamba okukuuma obutonde n’ebitonde ebirimu.
Okulima ebirime awamu n’emitti kugatwamu enkola z’okulima ebirime,ez’obulunzi n’ezokusiimba ebibira mu kiffo kyekimu.
Enkola z’okusimba ebibira zisobola okulabikira mu ngeri ez’enjawulo omuli ebikka by’emitti n’ebirime ebitetaaga ndabirira y’amannyi,Enkwatagana eri wakatti w’emitti n’ebimera oba ensolo ezirunddwa byamugaso ku mitendera egyenjawulo.Emitti egiri mu birime gisobola okutegekebwa mu nnyiriri,oba mu bu bokisi nga bujjayo ekifaananyi oba okusimba nga gisuulibwa. Obulimi bunno bulimu okugatta ebirime n’emitti ,emitti n’ebisolo oba okubigatta wamu byonna.
Emigaso gy’okulima emitti awamu n’ebirime.
Okulima kunno kuyamba okukuuma obutonde era n’okutereka omukka gwa carbon ekireetera okufuna amakungula amalungi.
Era kuleetera ettaka okuba eddungi era wekuba kutegekeddwa bulungi emirandira egyenjawulo mu kikula ky’ettaka ekyenjawulo gisobola okozesa amazzi obulungi.
Emitti giyamba ku ntereeza y’embeera y’obudde,gikendeeza ku nkulukuta y’ettaka n’amazzi.Ebirime ebyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka biteeka ekirungo kya nitrogen mu ttaka ekisobola okozesebwa ebirime.
Okulima kunno era kukendeeza ku nkozesa y’eddagala erifuuyirwa eritta obuwuka,kozesa okutabinkiriza okusobola okwewalira ddala endwadde n’obuwuka .
Obuzibu obuli mu kulima emitti n’ebimera awamu
Enkola z’okulima mu emitti n’ebirome awamu nzibu za kutandika wo kubanga kyetagisa amagezi mangi ,obukugu , n’abakozi okumala omwaka.
Okusinziira ku bika by’emiti ebikka n’ebikolebwa mmu kulima n’entegeka ezenjawulo , okulwanirira ekitangaala , ebirungo n’amazzi bisobola okufuuka ebitono nekivirako amakungula agava ku buli kirime okukendeera.
Ebimera ebimu tebikula bulungi nga biri wamu nga kino kiva ku ntegeka ya byo n’oby’ofukungula okusinzira ku byewateeka mu biyinza ookutwala ebbanga eppaanvu.