Olw’okuba ebikozesebwa ebyanguya emirimu ku faamu, embeera y’emipiira y’eraga obudde emirimu mwe gimalirizibwa, omutindo gw’omulimu n’okukola kw’emmotoka okulungi ku mulimu okukoleddwa.
Bwoba otereka emipiira, giroongoosenga nga tonnagitereka era bwoba okozesa ekibinja ekisukka mu kimu eky’emipiira buli kadde ku mmotoka erima, tereka bulungi ekibinja ky’emipiira ky’otakozesa kubanga entereka ennungi ewangaaza emipiira.
Endabirira y’emipiira
Mu kulabirira obulungi emipiira, waliwo obwetaavu bw’okukakasa nti ekifo ky’oterekamu kiyonjo era olw’okuba emipiira gikyafuwala mangu noolwekyo longoosa era ogikaze bulungi nga tonnagitereka. Era longoosa empanka z’emipiira nga gikyali ku mmotoka era emipiira giteeke wansi gisobole okukalira ddala nga tonnagitereka okugikuuma okuva eri akasana ng’ogibikka amatundubaali.
Okufaananako, kuuma ebbugumu ly’okuterekeramu lya 5-15 degrees centigrade oba 40-60 degrees Fahrenheight era bulijjo emipiira gikuumire wala ku bbugumu okwewala okugikosa. Weewale okutereka emipiira mu kifo kyonna ekigireetera okubissiwala oba ebifo ebinnyogoga ennyo era ziyiza ebintu bya butto, amafuta oba brake fluid okukwata ku mipiira gyo era totereka bintu bya mazzi wamu n’emipiira mu kifo kimu.
Emipiira singa gikwatagana n’ebintu by’amazzi, gyoze n’amazzi agabuguma ne ssabbuuni amangu ddala era kebera munda mu mipiira okulaba amazzi oba ekintu ekibisi kyonna. Kuuma emipiira wala n’ebintu by’amasannyalaze, n’ebipika omukka okwewala okujjamu enjatika.
Okwongerako, emipiira togiteeka waggulu nnyo oba okugisimba era ekisembayo ku mipiira egirimu empanka, kendeeza ku mukka era ogiteeke ku ginnaagyo.