Ebigimusa biyinza okuba eby’ensaano, eby’empeke oba ebya mazzi. Ebigimusa eby’ensaano bisobola okuteekebwa mu ttaka buterevu n’ebibikibwa n’ettaka ttono bireme kufumuka.
Fuukirira ebimera amazzi oluvanyuma lw’okuteekamu ekigimusa singa webikulira si waweeweevu. kino kiyamba okukakasa nti emirandira gy’ekimera ginyikidde bulungi ebirungo. Ekigimusa ky’ensaano kisobola okuteekebwa ku kimera nga okyetolooza,oba okukiteeka mu miwatwa, oba okukiteekako nga okyetoloozako ekitundu oba nga okitadde mu muwatwa ogusobola okutuuka obulungi ku kimera. Enkola y’okwetolooza y’esinga okulagirwa okukolebwa naddala ku ttaka essetevu kubanga ebirungo biba biteekebwa bulungi ku kimera. Enkola y’okuteekako ekigimusa nga okyetoloozako ekitundu esinga kulagirwa kukozesebwa mu kitundu nga ettaka lirina akaserengeto. Teeka ekigimusa ewasinga okuba awagulumivu ku kaserengeto okuziyiza okufirwa ekigimusa.
ENGERI ENDALA
Ekigimusa ekya mazzi n’eky’empeke bisobola okutabulwa mu mazzi n’ebiteekebwa ku bikoola nga okozesa ekidomola ekifuukirira oba ebbomba efuuyira.
Kozesa ekigimusa eky’amazzi mu bipimo ebiragiddwa okuziyiza okwokya ebikoola. Wekebejjanga ebimera era obiteekemu ebirungo nga potassium bisobole okuba n’obulamu n’okugguma, ekirungo kya nitrogen kiyamba ebikoola okukula n’ekimera okuba nga kya kiragala n’ekirungo kya phosphorous kiyamba okuggumya emirandira mpozzi n’emu kiseera ky’okumulisa.